Famire ya Barbra Kaija etenderezza Jjajja waabwe eyafiiridde ku myaka 102

Jjajja eyafudde ku mwaka 102 abadde ky'akulabirako kinene eri abazzukulu

Jjajja wa Barbara Kaija omukung'aanya w'oku ntikko mu Vision Group nga bw'abadde afaanana

Bya Joseph Mutebi

ABANTU ab'enjawulo batenderezza Dorothy Nakanyike eyafudde ku myaka 102,era nga y'abadde jjajja w'omukung'aanya wa Vision Group, ow'okuntikko Barbra Kaija.

"Twebaza katonda olw'ekirabo kya jjajja kyeyatuwa olw'amagezi n'obugunjufu by'atulaze ssaako n'okutussaamu embala y'okwagala Katonda.

Jjajja ku myaka 102, abadde akyategeera bulungi era yakoma okwesomera bayibuli yekka ng'alina emyaka nga 95,  era afudde talina wamuluma"Bwatyo Barbra Kaija bweyategeezezza.

Kaija yagambye nti okumanya katonda abadde yawa jjajja waabwe amagezi bw'abadde alina kyayagala okubuulirira ng'omuntu ng'akulinda wooli nateekamu akayimba era kino kibadde kitusanyusa  nnyo gattako jajja okubeera nti abadde amanyi eby'obufuzi bye ggwanga bwebitambula ku myaka 102.

Ye Pasita Samuel Kalibbala ng'ate abadde muzzukulu wa jjajja ono yagambye nti jjajja waabwe ono alese omukululo omuli abaana n'abazzukulu abasukka mu 400. Era n'asaba banne bakolere wamu okukuuma ekitiibwa kya jjajja ono nga baagalana ssaako okubeera nga basisinkana buli kiseera batwale oluganda mu maaso nga bazzukulu ba Nakanyike.

Ye Omusumba Sarah Ssuubi Ssemwenga okuva e Kampala-  Mengo yatenderezza jjajja okuba ng'abadde ayagala nnyo katonda era nga wadde yalokoka mukazi mukulu naye afudde ayagala nnyo katonda we era talina kubusabusa nti agenda kuyingira eggulu butereevu.

Dorothy Nakanyike 102,  yaziikiddwa ku Lwokuttaano ku kyalo  Mbasigudde e Kapeeka mu Nakaseke wakati mu kitiibwa.