Poliisi eggalidde eyaggyeemu ow'emyaka 17 olubuto

Rukundo gwe baggyamu olubuto

POLIISI ekutte omusawo eyaggyeemu ow'emyaka 17 olubuto n'asaba abasirikale  batuule bateese.

Juscent Namugumya 29 omutuuze mu Ssebina zooni mwalina  akalwaliro akatunda eddagala (Drug Shop) yakwatiddwa poliisi y'oku kaleerwe oluvannyumwa lwa Faridah Rukundo 17 okumulumirizza nga bwe yamuwadde obukerenda obuggyamu olubuto kyokka bwe yabumize embeera n'emutabukako ekyamuwalirizza ensonga okuzitwala mu boobuyinza.

Akalwaliro mwe baggyiramu Rukundo olubuto

Rukundo yategeezezza yava Gulu okujja e Kampala gye yafunira omuvubuka gw'amaanyiko erya Gerald ng'ono olwakitegedde nti afunye olubuto n'amuddukako ekyamuwalirizza okuluggyamu nga talina gy'agenda kujja buyambi.

Yagasseeko nti yagenze ew'omusawo Namugumya n'amusaba 40,000/- n'amuwa obukerenda n'amulagira abuteeke wansi w'olulimi obulala  mu bitundu bye eby'ekyama .

Namugumya  yasoose n'akirizza omusango n'asaba bamusonyiwe wabula  oluvannyuma yagambye nti  omuwala yagenze ku ddwaliro lye ng'amaze  okuggyamu olubuto  n'amusaba  40,000/  ez'obukerenda obuziyiza omusaayi era n'amugattirako  n'eddagala eddala.

Omusawo Namugumya ku kkono eyakwatiddwa

Namugumya yagambye nti obusawo abumazeemu emyaka 5 ng'ali ku ddaala lya Emlred nga yali akolera ku Pharmacy  e Mbikko  gye baamuwa oluwummula okugenda okuzaala kyokka okunoonyerezza kwa poliisi  kwazudde ng'eddwaliro lya Namugumya  teriri mu mateeka era omusango guli ku fayiro nnamba SD REF:33/24/06/2020

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe mu Ssebina zooni yategeezezza nti bwe yafunye okwemulugunya okuva ewa Asiimwe ensonga baabadde balina okuzitwala ku poliisi kuba yabadde mu mbeera mbi , yasabye abawala okukomya okufuna embuto mu basajja be balaba nti tebalina buvunaanyizibwa okusinga okumala okufuna embuto ne baziggyamu .

Paul Kibuuka akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere III yategeezezza nti  bazze  bazuula abaana abaggyiddwamu nga basuuliddwa mu myala we yasabidde abalina amalwaliro abakola ekikolwa eky'okuggyamu embuto okukikomya kuba tebalina njawulo n'abatemu, yagasseeko nti Namugumya yadde yabadde yeegaana Asiimwe yabadde amulumirizza nti ye yamuwadde obukerenda obuluggyamu.

Oluvannyuma ab'enganda za Namugumya baasabye poliisi esonyiwe omuntu waabwe ne bakkirizza okujjanjaba omuwala okutuusa lwa n'awona kyokka poliisi yabategeezezza nti kino tekiggyawo omusango.

Ebbaluwa Rukundo kwe yanywera eddagala