Abaserikale abaabadde bagenze okukwata eyatemaatema munne bafundikidde bamukubye amasasi agamuttiddewo

ABASIRIKALE ba poliisi y'e Kammengo babiri bakwatiddwa ne baggalirwa lwa kukuba mutuuze masasi agaamuttiddewo gwe baabadde bagenze okukwata ku musango gw'okutema munne.





CP Eria Luwalira ne SPC Harman Kinobe abasirikale ba poliisi y'e Kammengo abaakedde mu maka ga Paul Mukasa (30) omutuuze w'e Ndoddo mu ggombolola y'e Kammengo mu Mpigi ku musango gw'okutema muliranwa we baavudde mu mbeera ne bamukuba amasasi agaamuttiddewo bwe yagezezzaako okutema omusirikale enkumbi ku mutwe.

Paul Mukasa yasooka kutema muliranwa we Fredric Kanjakko gwe baafuna naye obutakkaanya ku kibanja kyokka poliisi y'e Kammengo bwe yagenzeyo okumukwata ku musango guno, n'abakwatira enkumbi n'emiggo nga yegattiddwako aba famire ye ne babakuba okutuusa omusirikale bwe yamukubye essasi n'afiirawo olwo ne badduka okutuuka ku poliisi y'e Kammengo ng'engoye zaabwe zonna baziyuzizza.
Bino byabaddewo ssaawa 1;00 ez'oku makya g'olwa Mmande (leero).