Wuuno maama eyasudde bbebi mu kaabuyonjo ataase eddya eppya

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo





Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko ewaabwe n'amuziikayo kyokka ne bamwewuunya obutababikira.

Jane Nnabukeera olwakwatiddwa bamukwasizza Poliisi n'aggulwako emisango ggy'okugezaako okutta omuntu egiri ku fayiro nnamba CRR 057/020 ng'akuumirwa ku kitebe kya Poliisi e Kalungu.

Omudduumizi wa Poliisi e Kalungu ASP Charles Okello akakasizza nti Nnabukeera emisango y'agiddirizza Kyamuliibwa gy'agambirwa okwetabira mu kikolwa ky'okutta omwana we owa wiiki emu.

DPC Okello agamba nti Nnabukeera omwana y'amuzaalidde wa bba omupya omusuubuzi Richard Ssebuliba agambibwa okumumugobya amuzzeeyo ewa kitaawe Yusufu Mugerwa kyokka n'ayiiyamu kya kumutta.

Omwana yawuliddwa Sheikh eyabadde agenze okufunirayo 'wuzu' n'emuwulira ng'akaabira munda mu kinnya n'atemya ku batuuze abagibbomodde ne bannyululayo ebbujje.

Abasawo ba St Joseph Musaanya Kyamuliibwa bamujanjabye n'adda bulungi engulu.