
Ssemujju yagambye nti ku kapapula k'akalulu kujja kubaako mannya na bubonero bw'ebibiina ebiwandiise mu matteeka nga FDC era eby'ekisinde kya ‘'People power'' tebijja kubaako. Era Abali mu People Power bajja kuba ng'abeesimbyewo ku bwanamugina.
N'awabula nti aba FDC abanaasalawo okugenda ne mu ‘'People power'' nayo babawandeko eddusu ba ddembe kyokka kiyinza obutabayamba kuba ssi kiwandiise mu matteeka ng'ekibiina ky'ebyobufuzi.
Ssemujju yabadde ayanukula bannamawulire abaamubuuzizza ku ky'abamu ku bammemba b'ekibiina kino abaasazeewo okugenda mu ‘'People power'' okubawandako eddusu.
Yagambye nti abeesimbyewo bakola obukodyo bungi okulaba nga bayitamu n'agamba nti ba ddembe n'okugenda mu ‘'People power'' nayo okubawandako eddusu kyokka bakimanye nti ebya ‘'People Power'' tebijja kuba ku kapapula ka kulonda.
Ssemujju yalumbye eyali minisita Mike Mukula olw'okugenda ng'alaga mu lwatu abantu b'ayita aba FDC ng'agamba nti baasaze eddiiro okugenda mu NRM ekitali kituufu . N'alumiriza nti Mukula akubisa obufulaano bwa FDC ne kaadi z'ekibiina kino ez'ebicupuli n'abikwasa abantu abatali ba FDC b'agenda alaga nti basaze eddiiro asobole okusanyusa bakama be.
Kyokka yagambye nti tebagenda kumwonoonerako biseera kuba bamumanyi ssi mwesimbu n'amulangira nti erinnya lye lyalabikirako ne mivuyo gy'ensimbi z'okulwanyisa akawuka ka Siriimu eza Global Fund.