Poliisi ewera kukwata ba bbodabboda abazzeemu okusabaza abantu

POLIISI erabudde aba bbodabooda abazzeemu okusaabaza abantu nti egenda kubakwata n’okubowa pikipiki zaabwe kuba olunaku Pulezidenti lwe yabalagidde okuddamu okukola lwa Mmande July 27 ng’ate balina kubaako bukwakulizo bwe batuukiriza.





Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti eky'ennaku aba bbodabooda abamu batekako n'abasabaze abasukka mu omu n'alabula nti abasaabaze bagenda kukwatibwa wamu n'aba bododaboda ne pikipikpiki ziwambibwe ng'okuzibaddiza balina kusooka kutuukiriza bukwakulizo bwassiddwaawo Pulezidenti.

Kino kidiridde Pulezidenti Museveni okukiriza aba bodaboda okuddamu okusabaza abantu nga July 27 kyokka n'agamba nti balina kusooka kutuukiriza bukwakulizo bwabatereddwaawo okuli okwambala obukokola n'ekikofiira (helementi),okuba n'ebitabo bwe bawandiika kalonda akwata ku musaabaze n'okuba ebisanizo ebirala nga pamiti ne  yinsuwa.

Enanga yategeezezza bannamawulire  ku Media Centre mu Kampala nti  aba bodaboda abamu tebalinze nsalesale yabawereddwa bazze dda ku mirimu nga kino kimenya mateeka era bagenda kubayoola. Yagambye nti ne pikipiki ezaaboyebwa mu bikwekweeto by'okulwanyisa ssenyiga tezigenda kuwebwa bannyini zo okuggyako nga basoose kutuukiriza bukwakulizo bwabassiddwaako.

Enanga era yasabye aba LC , KCCA n'ebitongole ebirala okuyamba ku poliisi  okulaba ng'aba saluuni abakiriziddwa okuddamu okukola balina ebisanizo ebyabalagiddwa okuba nabyo nga tebanaddamu kukakkalabya mirimu gyabwe. N'agamba nti poliisi yokka eyinza obutasobola kukola mulimu guno.

POLIISI YEGAANYI OKUKUBA BBOMU MU BA BOBI WINE:

Ku nsonga endala Poliisi yeegaanyi okukozesa bbomu okugumbulula abawagizi ba Bobi Wine mu Kampala abaabadde bagezaako okukung'ana nga balinda Bobi Wine eyabadde ava okwogera ku TOP ttivi.

Enanga yagambye nti baakozesezza ttiyaggaasi ssi bbomu kuba tebaabadde ku lutalo. N'agamba nti tewali kyetaagisa kukuba Bannayuganda batalina musango bbomu.