Akasattiro: Abasibe 8 batolose ku CPS mu Kampala

POLIISI eri ku muyiggo gw’abasibe ab’omutawaana munaana abagambibwa okutoloka mu kaduukulu ku CPS.

Bano kwabaddeko abagambibwa okukulira akabinja k'ababbi b'emmotoka mu Kampala, n'ebitundu by'eggwanga ebirala, basatu n'ab'akabinja akateega abantu ne kababbako ssente bataano.

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti abasibe abavunaanibwa emisango gy'okubba emmotoka baabakwata wiiki ewedde ku luguudo lwa Jinja Road, n'abamu okumpi n'ekibangirizi kya City Square, mu Kampala.

Bano ekitongole kya Flying Squad kibadde kigenda mu maaso n'okubakunya okwogera bannaabwe be babba nabo kyokka eby'embi ne batoloka omulundi gumu. Kiteeberezebwa nti abamu ku basajja bano babadde beenyigira ne mu kutta abantu nga bababbako emmotoka.

Okunoonyereza kulaga nti bano nga July 19, 2020 ku ssaawa 3:00 ez'ekiro, baasinzidde mu emu ku ofiisi ya Flying Squad, mwe baabadde babakuumira, ne bamenya omutayimbwa mu ddirisa oluvannyuma ne basikayo entimbe ezaabadde mu ofiisi ne bazizinga ng'omuguwa, olwo ne bayita mu ddirisa nga bakkirako ne bagwa wabweru w'ekizimbe kya CPS, ne bamalamu omusubi.

Abasibe abalala, ensonda zigamba nti baabadde babanoonyerezaako ku bigambibwa nti babba ku Bachina ssente obukadde 300.

"Akabinja kano kaamutawaana kubanga kasinga kubaamu bakanyama, ababaza omuntu abeera ava mu bbanka ne bamusalako ne bamubba,'' Ensonda ku bamu ku banoonyereza ku misango gino, bwe zaategeezezza.

Kigambibwa nti ab'akabinja kano basinga kutigomya bagwira omuli Abachina, n'Abazungu, ate oluusi ne basalako abadigize.

"Abasajja bano be bamu ku baateega akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku CPS, Joshua Tusingwire, ne bamukuba okumwogoloza oluvannyuma ne bamubbako ssente n'essimu ze gye buvuddeko," omu ku bambega bwe yatutegeezezza.

Ensonda zaayongeddeko nti, bano okutoloka, poliisi yabadde ebatwala mu kkooti emu mu Kampala, okuvunaanibwa emisango gy'okubba n'okulumya abantu.

Kigambibwa nti omu ku bo yayasizza endabirwamu y'emmotoka mwe baabadde era okukkakkana ng'omu poliisi emukubye essasi mu kugulu.

POLIISI EYOGEDDE

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango, yakakasizza okutoloka kw'abamu ku basibe n'ategeeza nti abamu ku baserikale baabwe baakwatiddwa ku nsonga eno. Yagambye nti waliwo abasibe bataano, be baakutte ku baasooka okutoloka wabula ng'omuyiggo gw'abasigaddeyo gukyagenda mu maaso.

Onyango, okutoloka kw'abamu ku basibe yakitadde ku bulagajjavu bw'abaserikale olw'okuba abatono ate ng'abasibe bangi.

Kyokka poliisi yagaanyi okwogera ku basibe abalala abasatu, abeeyambisizza kkateni gye baaluse ng'omuguwa ku CPS, ne bakkirako ne babomba.