Gavt. ereese ebiragiro ebipya ku ba bodaboda

GAVUMENTI efulumizza ebiragiro ku bavuzi ba bodaboda abatandise leero okuddamu okusaabaza abantu. Ebiragiro ebikakali okusinga bissiddwa mu kibuga wakati nga biraga zzooni mwe balina okukolera n’obutakolera.





Kyokka bo abasaabaze bazeesunze nga bagamba nti zinaabawonya abattakisi abaseera ssaako akalippagano. Mu nteekateeka ya KCCA empya olukiiko lwa baminisita gye lwayisizza, waliwo ekitundu ekimu mu Kampala awagaaniddwa bodaboda era kituumiddwa ‘bodaboda free zone'.

Kino kitandikira ku nkulungo ya Wampeewo, okugenda mu masahhanzira g'ebitaala bya Jinja Road ku kizimbe kya Kitgum House, okuyita ku luguudo lwa Mukwano. Oluguudo lweyongerayo okugenda ku ssaawa ya Kwiini, okuyita ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kisenyi, okugenda ku Mackay, okuyunga ku lwa Kyagwe n'okwambuka ku kkanisa ya Watoto.

Ppikippiki ebalaamiriza okugenda mu bitaala bya Wandegeya n'eweta ku nkulungo y'e Mulago, okuyita mu masahhanzira g'e Kamwokya, okugenda ku luguudo lwa Sturrock, okuyita ku Prince Charles Drive okudda ku Lugogo By pass n'okuddayo ku nkulungo ya Wampeewo.

KCCA yayanjula nti tewali ppikippiki ziva bweru wa kitundu ekyo ziyingira wakati mu kibuga era obupande obuzigaana okuyingirayo bwassiddwa dda ku nguudo.

BIRAGIRO EBIRALA

Aba bodaboda bonna bateekwa okwewandiisa ku siteegi. Buli siteegi yaweebwa ennamba ey'enjawulo n'erinnya. Aba bodaboda baddembe okwewandiisiza ku siteegi ez'enjawulo ze baagala kyokka bateekwa okuba mu lukalala okusobola okuzirondoola nga waliwo akwatiddwa ssennyiga omukambwe.

Buli kibiina ne kkampuni ezifuga abavuzi ba bodaboda naddala abo abakozesa essimu bateekwa okuwaayo olukalala lwa bammemba baabwe mu Gavumenti. Aba bodaboda abatalina kkampuni mwe bakolera oba ekibiina bakkiriziddwa okufuna ffoomu kwe beewandiisiza okuva mu KCCA oba ku kibanja kya KCCA eky'omutimbagano.

Okwewandiisa kwa bwereere. Buli omu alina okuba ne sanitiyiza n'ekitabo mw'awandiika omusaabaze. Ateekwa okuba n'ekikoofiira ekiriko endabirwamu ate ng'alina n'akabisse ku mumwa, amaaso n'ennyindo.

Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwa Abine yagambye nti ebiragiro bya Pulezidenti byonna bye yawa bateekwa okubiteeka mu nkola.

Yagambye nti mu kitundu omutakkirizibwamu ppikippiki, tebagenda kusooka kukwasisa mateeka okutuusa ng'enteekateeka y'okubawandiisa n'okubawa siteegi mu kibuga emaliriziddwa.

Yagambye nti okwewandiisa kwatandise era buli omu ateekwa okuba n'ebiwandiiko ebyogera ku ppikippiki ye n'omuntu agivuga. Kampala alimu siteegi 579 ate Kampala Central alimu siteegi 34 zokka.