Basanze ekinusu ky'e 100/- mu ggi ly'enkoko effumbe ne basoberwa

ABANTU b'oku mwalo gw'e Ggaba balabye ekyewuunyisa oluvannyuma lw'enkoko okubiika ejji nga lirimu ekinusu.

Peregiya Namutebi ow'emyaka 74 nnannyini nkoko eno ategeezezza nti enkoko eno ebadde yaakabiika amagi ataano kwekusalawo okufumba ku magi balyeko wabula ekyabeewuunyisizza erimu ku magi agaafumbiddwa bwe baalisusizza ne basangamu ekinusu ky'ekikumi (100/=)