Aba LDU basabiddwa okulongoosa empisa

AKULIRA emirimu mu magye g’okuttaka, Maj.Gen. Leopold Kyanda, akyalidde abaserikale ba LDU e Kakiri, n’abakalaatira okulongoosa erinnya lyabwe.

Maj. Gen. Kyanda ng’ayogera n’aba LDU e Kakiri.

"Mu UPDF atalina mpisa talinaamu kifo. Mukimanye nti, ewaffe tebeera mpisa nsiiwuufu. Kye twetaaga ze mpisa enzijuvu okwewala okunyiiza bannansi," bwe yagambye.

Yabasabye okutwala ebibasomesebwa ng'ekikulu bibayambe okutereeza engeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

Abalala abaabasomesezza kwabaddeko amyuka aduumira eggye ezzibizi, Maj. Gen.Stephen Rwabantu, atwala ensonga z'ebyobufuzi mu UPDF, Maj.Gen. Henry Matsiko, n'omwogezi, Brig.Gen. Flavia Byekwaso.