KCCA etabukidde kkampuni y'Abachina abakola enguudo akasoobo

KCCA egugumbudde kkampuni y’Abachina eyakwasibwa okukola enguudo ennene ssatu okuli olwa Nakawa-Ntinda, Kulambiro ne Acacia okulwawo okuzimaliriza nti bamenye endagaano gye baakola.

David Ddali Luyimbazi, Faridah Mpiima, Andrew Kitaka n’abalala nga balambula oluguudo lwa Nakawa ne Kulambiro eggulo.





Omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Ying. David Ssali Luyimbazi yazirambudde ku Lwokutaano ne yeewuunya engeri omulimu ogwali guteekeddwa okumalirizibwa ku ntandikwa y'omwaka n'okutuusa kati tezinnaggwa.

Yabadde n'omubaka wa pulezidenti atwala Kampala, Faridah Mayanja Mpiima ne dayirekita w'enguudo mu KCCA, Andrew Kitaka, n'abakungu ba Bank y'ensi yonna abawa KCCA ssente ezikola. Yatandikidde ku luguudo lwa Acacia olukolebwa n'agamba nti, omulimu bagukutte kasoobo.

Enguudo zino baaziwa kkampuni y'Abachina eyitibwa China State Construction and Engineering Cooperation Ltd.

Zino zaali zisuubirwa okumaliriza okukola mu February wa 2020 kyokka n'okutuusa kati bakyakola nga n'emyala egimu tebannagizimba.

Akulira bayinginiya mu kkampuni eno, Gianyarco Dall'Acqua yagambye nti balina ekizibu kya mmotoka ennyingi ezikozesa enguudo zino nga zibeerako obulippagano ne bubalemesa okukola.

Ate akwata ku mbeera z'abantu, David Mugurusi yagambye nti, kkampuni yawalirizibwa okuteekawo abantu abayamba ku bidduka kyokka era bakaluubirizibwa kubanga obulippagano bukwata okuva ku makya okuzibwa obudde.

Wabula Luyimbazi yagambye nti tebasobola kugumiikiriza kkampuni zikola kasoobo ate nga byonna baabissa mu biwandiiko.

Omubaka wa Pulezidenti, Faridah Mayanja yagambye nti, kkampuni ezikola emirimu akasoobo tebazaagala kubanga zirabisa bubi Pulezidenti Museveni.

Yategeezezza nti, ekiseera kye balimu kati kya byabufuzi nga baagala buli ekikolebwa bakyanguye.

Luyimbazi yalagidde nti ayagala kkampuni zitandike okukola emisana n'ekiro ng'obudde bwetadde okusobola okwanguya omulimu.

KCCA egugumbudde kkampuni
y'Abachina eyakwasibwa okukola
enguudo ennene ssatu okuli olwa
Nakawa-Ntinda, Kulambiro ne
Acacia okulwawo okuzimaliriza
nti bamenye endagaano gye
baakola.
Omumyuka wa dayirekita
wa Kampala, Ying. David Ssali
Luyimbazi yazirambudde ku
Lwokutaano ne yeewuunya engeri
omulimu ogwali guteekeddwa
okumalirizibwa ku ntandikwa
y'omwaka n'okutuusa kati tezinnaggwa.
Yabadde n'omubaka wa pulezidenti
atwala Kampala, Faridah
Mayanja Mpiima ne dayirekita
w'enguudo mu KCCA, Andrew
Kitaka, n'abakungu ba Bank
y'ensi yonna abawa KCCA ssente
ezikola. Yatandikidde ku luguudo
lwa Acacia olukolebwa n'agamba
nti, omulimu bagukutte kasoobo.
Enguudo zino baaziwa kkampuni
y'Abachina eyitibwa China
State Construction and Engineering
Cooperation Ltd. Zino zaali
zisuubirwa okumaliriza okukola
mu February wa 2020 kyokka
n'okutuusa kati bakyakola nga
n'emyala egimu tebannagizimba.
Akulira bayinginiya mu kkampuni
eno, Gianyarco Dall'Acqua
yagambye nti balina ekizibu kya
mmotoka ennyingi ezikozesa enguudo
zino nga zibeerako obulippagano
ne bubalemesa okukola.
Ate akwata ku mbeera
z'abantu, David Mugurusi yagambye
nti, kkampuni yawalirizibwa
okuteekawo abantu abayamba
ku bidduka kyokka era bakaluubirizibwa
kubanga obulippagano
bukwata okuva ku makya okuzibwa
obudde.
Wabula Luyimbazi yagambye
nti tebasobola kugumiikiriza
kkampuni zikola kasoobo ate nga
byonna baabissa mu biwandiiko.
Omubaka wa Pulezidenti,
Faridah Mayanja yagambye
nti, kkampuni ezikola emirimu
akasoobo tebazaagala kubanga
zirabisa bubi Pulezidenti Museveni.
Yategeezezza nti, ekiseera kye
balimu kati kya byabufuzi nga
baagala buli ekikolebwa bakyanguye.
Luyimbazi yalagidde nti
ayagala kkampuni zitandike okukola
emisana n'ekiro ng'obudde
bwetadde okusobola okwanguya
omulimu.