Gav't etandise okuggala amakomera lwa COVID19

GAVUMENTI etandise okuggala agamu ku makomera oluvannyuma lw’omuwendo gw’abasibe abakwatibwa ssenyiga wa COVID 19 okugenda nga gulinnya.

Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera Frank Baine ategeezezza nti ssenyiga ayongedde okusasaana mu basibeekiwalirizza gavumenti okutandika okuggala agamu ku makomera.

Bino yabitegeezezza mu lukung'ana lwa bannamawulire mu Kampala n'agamba nti ekkomera ly'e Kitgum lyaggaddwa oluvannyuma lwokukebera abasibe ne kizuulibwa nti abasibe mukaaga balina ssenyiga. Amakkomera amalala okuli Pece ne Gulu nago gaggaddwa gasobole okufuuyirwa okugobamu obuwuka bwa ssenyiga.

Baine yagambye nti abasibe 153 baggyibwa e Amuru ne batwalibwa awajjanjirwa abalwadde ba ssenyiga e Gulu era bagenda bakuba ku matu.

Yagambye nti waliwo n'omusibe omulala eyava e Tororo n'atwalibwa mu ddwaliro e Mbale ng'amenyese omugongo kyokka kigenda okuzuulwa ng'afunye ssenyiga.

Ono n'abantu babiri ababadde bamuyamba baatwaliddwa awajjanjabirwa aba COVID e Jinja.

Yayongeddeko nti  ekitongole ky'amakomera tekikyakkiriza bagenyi bagenda kulaba basibe era abayagala okubalaba baba balina okuba n'ensonga ezirimu ensa okugeza nga balooya wabwe era balina kusooka kufuna lukusa kuva wa aduumira ekitongole ky'amakkomera.

Yagambye nti e Fort Portal ne Arua kkooti enkulu etandise okuwozesa abasibe  naddala abalina emisango egyekuusa ku kukaka omukwano n'aboobutabanguko mu maka. N'agamba nti Jinja ne Iganga kkooti enkulu ejja kutuuzaayo entuula zaayo  wiiki ejja.