Bobi Wine yeegaanyi okukola effujjo

OMUKULEMBEZE w'ekibiina kya NUP era ow'ekisinde kya People Power, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ayanukudde Pulezidenti Museveni ku kulabula kwe yakoze gye buvuddeko nti bakolagana n'abagwira ababawa ssente era be batta abantu ku nkuhhaana olwo ne bavumaganya gavumenti.

Yagambye nti yeewuunya oba nga ddala Pulezidenti Museveni akyamanyi ebigenda mu maaso mu nsi oba nga yafuukira ddala mulimba ataliimu nsonyi.

Yayongeddeko nti kimwewuunyisa okubeera nti mu Uganda mulimu Genero kyokka ng'atya nnyo, ekintu ekikontana n'ekitiibwa kya munnamagye ali ku ddaala eryo.

Kino yakyesigamizza ku bintu bingi omuli ebyabaddewo mu kulonda kw'abavubuka mwe yagambye nti aboobuyinza mu bitundu by'eggwanga bingi nga bakulemberwa ba RDC ne poliisi, baalemesezza abavubuka b'oludda oluvuganya okwesimbawo nti era baasula babayigga ekiro kyonna, nti ate n'abaawangula era ebyava mu kulonda byakyusibwa, kyokka n'awulira oluvannyuma nga Pulezidenti yeewaanira mu buwanguzi obufaanana bwe butyo.

Okuwandiika bino yabadde asinziira ku kiwandiiko pulezidenti kye yafulumizza omwezi oguwedde nga August 27, bwe yabadde ayanukula omubaka Francis Zaake, eyamulumba gye buvuddeko ng'entabwe eva ku baserikale abaamukwata ne bamutulugunya n'akoma ku mugo gw'entaana.

Yagambye nti Pulezidenti yawandiise bingi kyokka yasazeewo okwanukula n'ensonga musanvu zokka.

Bino Bobi Wine yabifulumirizza ku mikutu egy'enjawulo okuli n'ogugwe ogwa Facebook n'agamba nti olw'ettemu n'okutulugunya abantu kiswaza ate okuyita abakulembeze b'enzikiriza ne bagamba nti basabira kumalawo kirwadde kya Corona kyokka ng'ate amasinzizo maggale.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eggulo ng'asinziira ku kitebe kya NRM mu Kampala yagambye nti abakozesa effujjo kibeera kikyamu kubanga ye yasalawo kati abamulumba nga bayita ku mikutu gya ‘Social media' abaanukula ng'akozesa omukutu gwe gumu.

Bwe babeera bazze bangi agenda kubaanukula era buli amatira ng'avaako kyokka ku bonna talina gw'alumya ng'amutusaako obuvune ku mubiri kubanga n'abamuvuma ye abaanukuza ddembe.

Bobi yazzeemu okukiggumiza nti okusinziira ku Pulezidenti bye yawandiika ng'agamba nti Bobi Wine ne Zaake baabakuba bulungi nga bali mu Arua, kabonero akalaga nti abaakikola baali bakolera ku biragiro bye.

Yagambye buli lw'ajjukira ebyamutuukako agugumuka era n'olumu bimujjira mu birooto kubanga abaamukuba kirabika nga baali bazze kusaanyaawo bulamu bwe.

Nti era amasasi agatta Yasin Kawuma gaali ga kutta ye kennyini, kyokka yeewuunya oluvannyuma lwa Pulezidenti okuwaana abaamukuba nti baamukuba bulungi ate n'avumirira ebikolwa eby'effujjo.

N'agamba nti okwefuulafuula kuno kw'akozesa mu buli mbeera omuli n'okugulirira abawagizi ba People Power kyokka n'agamba nti avumirira okugulirira abalonzi.

Eky'okugamba nti batta abantu ku nkuhhaana basobole okuvumaganyisa gavumenti, yagambye nti omuntu asobola okubeera nga tassa kitiibwa mw'abo abamuvuganya naye tekibeera kya bwenkanya okukudaalira abaafa.

Yamenye olukalala lw'abavubuka abazze bafiira mu kavuyo ak'enjawulo nga: Asuman Walyendo, Yasin Kawuma, Vincent Rungaya, Yusuf Katende , Ssalongo Stephen Lukoma, Hannington Ssewankambo, Hakim Ssekamwa, Ritah Nabukenya, Dan Kyeyune, Charles Mutyabule n'abalala bangi be yagambye nti olukalala luwanvu.

Yeewuunyizza nti buli awafiira omu ku bantu abo ne bwe wabeerawo kkamera bw'amala okufa nga babategeeza nti kkamera eziriwo tezikola ne batasobola kufuna bifaananyi by'abo abakoze ettemu. \

Kyokka yagambye nti obutambi obulaga abatta abantu abo basobola okubufuna era babulina.

OMUKULEMBEZE w'ekibiina kya
NUP era ow'ekisinde kya People
Power, Robert Kyagulanyi (Bobi
Wine) ayanukudde Pulezidenti
Museveni ku kulabula kwe yakoze
gye buvuddeko nti bakolagana
n'abagwira ababawa ssente era be
batta abantu ku nkuhhaana olwo
ne bavumaganya gavumenti.
Yagambye nti yeewuunya oba
nga ddala Pulezidenti Museveni
akyamanyi ebigenda mu maaso
mu nsi oba nga yafuukira ddala
mulimba ataliimu nsonyi.
Yayongeddeko nti kimwewuunyisa
okubeera nti mu Uganda mulimu
Genero kyokka ng'atya nnyo,
ekintu ekikontana n'ekitiibwa kya
munnamagye ali ku ddaala eryo.
Kino yakyesigamizza ku bintu
bingi omuli ebyabaddewo mu
kulonda kw'abavubuka mwe
yagambye nti aboobuyinza mu
bitundu by'eggwanga bingi nga
bakulemberwa ba RDC ne poliisi,
baalemesezza abavubuka b'oludda
oluvuganya okwesimbawo nti era
baasula babayigga ekiro kyonna,
nti ate n'abaawangula era ebyava
mu kulonda byakyusibwa, kyokka
n'awulira oluvannyuma nga Pulezidenti
yeewaanira mu buwanguzi
obufaanana bwe butyo.
Okuwandiika bino yabadde
asinziira ku kiwandiiko pulezidenti
kye yafulumizza omwezi
oguwedde nga August 27, bwe
yabadde ayanukula omubaka
Francis Zaake, eyamulumba
gye buvuddeko ng'entabwe eva
ku baserikale abaamukwata ne
bamutulugunya n'akoma ku mugo
gw'entaana.
Yagambye nti Pulezidenti
yawandiise bingi kyokka yasazeewo
okwanukula n'ensonga
musanvu zokka. Bino Bobi
Wine yabifulumirizza ku mikutu
egy'enjawulo okuli n'ogugwe
ogwa Facebook n'agamba nti
olw'ettemu n'okutulugunya abantu
kiswaza ate okuyita abakulembeze
b'enzikiriza ne bagamba nti
basabira kumalawo kirwadde kya
Corona kyokka ng'ate amasinzizo
maggale. Pulezidenti Museveni
bwe yabadde ayogera eggulo
ng'asinziira ku kitebe kya NRM
mu Kampala yagambye nti abakozesa
effujjo kibeera kikyamu
kubanga ye yasalawo kati abamulumba
nga bayita ku mikutu
gya ‘Social media' abaanukula
ng'akozesa omukutu gwe gumu.
Bwe babeera bazze bangi
agenda kubaanukula era buli amatira
ng'avaako kyokka ku bonna
talina gw'alumya ng'amutusaako
obuvune ku mubiri kubanga
n'abamuvuma ye abaanukuza
ddembe. Bobi yazzeemu okukiggumiza
nti okusinziira ku Pulezidenti
bye yawandiika ng'agamba
nti Bobi Wine ne Zaake baabakuba
bulungi nga bali mu Arua,
kabonero akalaga nti abaakikola
baali bakolera ku biragiro bye.
Yagambye buli lw'ajjukira
ebyamutuukako agugumuka
era n'olumu bimujjira mu birooto
kubanga abaamukuba
kirabika nga baali bazze kusaanyaawo
bulamu bwe. Nti era
amasasi agatta Yasin Kawuma
gaali ga kutta ye kennyini, kyokka
yeewuunya oluvannyuma lwa
Pulezidenti okuwaana abaamukuba
nti baamukuba bulungi ate
n'avumirira ebikolwa eby'effujjo.
N'agamba nti okwefuulafuula
kuno kw'akozesa mu buli mbeera
omuli n'okugulirira abawagizi ba
People Power kyokka n'agamba
nti avumirira okugulirira abalonzi.
Eky'okugamba nti batta abantu
ku nkuhhaana basobole okuvumaganyisa
gavumenti, yagambye
nti omuntu asobola okubeera nga
tassa kitiibwa mw'abo abamuvuganya
naye tekibeera kya bwenkanya
okukudaalira abaafa.
Yamenye olukalala
lw'abavubuka abazze bafiira mu
kavuyo ak'enjawulo nga: Asuman
Walyendo, Yasin Kawuma,
Vincent Rungaya, Yusuf Katende
, Ssalongo Stephen Lukoma,
Hannington Ssewankambo, Hakim
Ssekamwa, Ritah Nabukenya,
Dan Kyeyune, Charles Mutyabule
n'abalala bangi be yagambye nti
olukalala luwanvu. Yeewuunyizza
nti buli awafiira omu ku bantu
abo ne bwe wabeerawo kkamera
bw'amala okufa nga babategeeza
nti kkamera eziriwo tezikola ne
batasobola kufuna bifaananyi
by'abo abakoze ettemu. Kyokka
yagambye nti obutambi obulaga
abatta abantu abo basobola
okubufuna era babulina.