Poliisi eyogedde eyakwasizza omugagga wa Maria's Cargo

POLIISI ennyonyodde ekyakwasizza nnannyini kkampuni ya Maria’s Cargo, Maria Nakaweesi, ku misango egyekuusa ku bufere.

Nakaweesi nnannyini kkampuni ya Maria's Cargo eyakwatiddwa.

Poliisi okuvaayo kiddiridde amawulire okusaasaana ku mutimbagano nti Nakaweesi yabadde abuziddwaawo ku Ssande emisana ttuku.

Oluvannyuma omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yafulumizza ekiwandiiko eri abaamawulire mwe yategeerezza nti Nakaweesi yabadde ali mu mikono gya poliisi oluvannyuma lw'okusangibwa n'ebicupuli bya doola za Amerika.

Ekiwandiiko kya Onyango kyategeezezza nti, "Poliisi yakutte omusuubuzi n'owa sipesulo, Umar Lutaaya olw'okusangibwa n'ebicupuli bya doola 24,300 era baakwattiddwa ku Ssande oluvannyuma lw'abeebyokwerinda okutemezebwako ku misango gy'obufere gye baabadde bagenda okukola ku luguudo lw'e Kayunga.

Mu mmotoka mwe baabadde (Raum UBD 902Y) yabaddemu n'ebicupuli bya doola 24,300 n'akabookisi (k'ekyuma) omwabadde ebiragalalagala.

Bano bakuumirwa ku poliisi y'e Mukono era nga bagguddwaako emisango gy'ebicupuli ku fayiro nnamba GEF 162/20 ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

ABA KKAMPUNI YA MARIA'S BOOGEDDE Abamu ku behhanda n'abakozi ba kkampuni eno (abataayagadde kubaatuukiriza mannya) baategeezezza nti, baasembyeyo okubeera ne Nakaweesi ku Ssande ku makya bwe yavudde mu maka ge e Bwebajja ng'ali ku bigere n'alekawo emmotoka ye ey'ekika kya ‘Land Cruiser'.

Era nti bazzeemu okumuwuliza ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo ng'abategeeza ng'abasajja bwe baamusazeeko ng'ava mu ddwaaliro. Amawulire gano gaabawalirizza okutandika okumukubira essimu kumukumu okumanya ekyabadde kimutuuseeko kyokka nga teziriiko. Kino kye kyabawalirizza okutandika okumunoonyeza ku bitebe bya poliisi eby'enjawulo okwabadde eky'e Bwebajja (gy'abeera) n'e Kireka.

Wabula baabadde bakyamunoonya, eggulo Poliisi n'evaayo n'ekiwandiiko ekitegeeza nti be baabadde bamulina.

Mu ngeri y'emu, waliwo n'omusuubuzi Robert Ssessaazi akolera ku kizimbe kya Nabugabo, abantu be gwe baabadde balowooza nti abuziddwaawo okutuusa poliisi era lwe yavuddeyo n'etegeeza nti y'emulina.

Nakaweesi yayimbuddwa eggulo nga tatwaliddwa mu kkooti kyokka yagaanyi okubaako ky'ayogera.