Engeri mbega gye yazaalidde Kaka ebizibu

Sgt. ArinaitweAbantu

Kigambibwa nti bukya akomawo okuva mu buwang'anguse, ekitongole kya ISO, kyamukweka wadde nga CMI mwe yali akolera kyali kyamusaba okubaako bye bamubuuza.

Kigambibwa nti Kaka, bwe yamugaanira, olwo CMI ne SFC, ne baluka pulaani y'okumufuna. Kigambibwa nti Kaka yagwa mu lukwe luno n'aggya Arinaitwe we yali amukuumira n'amutwala e Kisaasi.

Nga wayise ennaku ssatu, CMI ne SFC, baafuna amawulire gano era ne banoonyereza ekifo we yali amukuumira ne bakirumba nga bukya okutuusa lwe baamufuna ne bamutwala ne banne abalala.

Oluvannyuma Arinaitwe, yatwalibwa aba SFC e Ntebe gye yakuumirwa okumala ebbanga oluvannyuma ate ne bamukwasa aba CMI.
Mbega ono yakomawo mu February 2019, ng'ava mu e Ghana gye yali yeekweka ng'agamba nti waliwo abaali baagala okumutta.

Kigambibwa nti waliwo ensi endala gye yabeeranga wabula oluvannyuma amakanda n'asalawo kugasimba mu Ghana.

Abadde akuumibwa n'abantu abalala okuli Isma Wamala, ng'ono yali yakwatibwa ku nsonga ezeekuusa ku bubbi obwakolebwa ku dduuka lya Cheap Hardware e Nansana, Munnakenya amanyiddwa nga Francis, ne Abdulnoor Rwogamugatyariza Kiiza, amanyiddwa nga ‘Rasta'. Ono ye yategeeza nti ye yavuga emmundu ezaakozesebwa abatta AIGP Andrew Felix Kaweesi, mu March, 2017 e Kulambiro.

Arinaitwe kigambibwa nti abadde atawaanyizibwa ekirwadde kya sukaali, era nga buli kumakya n'olweggulo, waliwo akalwaliro we bamutwala n'afuna obujjanjabi.

Ensonda mu ffamire, ya Arinaitwe, zaategeezezza Bukedde nti, Kaka yali yabasuubiza okukkiriza okuta omuntu waabwe bamukuumire mu makaage e Muyenga wabula ate n'asalawo okumusibira mu ‘safe house'.

Ensonda mu ISO, zaategeezezza nti Arinaitwe aludde ng'asaba okumutwala ewa Pulezidenti Museveni, abeeko ebyama by'amutegeeza.

"Lumu Kaka, yawa Arinaitwe, essimu n'ayogerako ne Pulezidenti, nga yaakakomawo. Kigambibwa nti ku olwo, Pulezidenti yalagira Kaka, akole enteekateeka asobole okusisinkana omusajja ono boogeremu, kyokka Kaka abadde takikolanga."

Mu bbaluwa gye yawandiikira Pulezidenti ng'amaze okudduka mu ggwanga mu 2018, Arinaitwe yategeeza nti waliwo abanene mu Poliisi ne mu maggye, abaali bamulondoola nga baagala okumutta, nga bamulanga kubajeemera ku misoni enkambwe ze baali bamusabye abakolere omwali n'ey'okutta Pulezidenti.

Kigambibwa nti ebigambo Arinaitwe, bye yateeka mu kiwandiiko kye ebimu amaggye gaabizuula nga byali bituufu, era bwe baawulira nti akomyewo mu ggwanga, ne baagala boogereko naye wabula, ISO n'ebalemesa.

Ensonda mu by'okwerinda ziraga nti ebitongole by'amaggye bikola lipoota ku binnaabyo oluusi nga zirimu okuwaayiriza, era nga kigambibwa nti ne ku mulundi guno, wabaddewo embiranye wakati w'ebitongole; ISO ne CMI, entambwe ng'eva ku musajja Simon Peter Odongo.

Omusajja ono yakwatibwa aba CMI nga bamulanga okubakola lipoota enjingirire.