Abawagizi ba Latif bamulabudde obutanyooma Ssegirinya

OMUBAKA Latif Ssebaggala owa Kawempe North agambye nti tewali agenda kumujja ku mulamwa gw’okukiikirira abantu b’e Kawempe okuggyako Katonda yekka eyamuteeka mu bukulembeze buno.

Latif Ssebaggala ng'ayogera eri abawagizi be. Baabadde Kyebando.

OMUBAKA Latif Ssebaggala owa Kawempe North agambye nti tewali agenda kumujja ku mulamwa gw'okukiikirira abantu b'e Kawempe okuggyako Katonda yekka eyamuteeka mu bukulembeze buno.

Okubuukuula kuno akukoledde ku ofiisi ze e Kyebando bw'abadde atongoza ttiimu egenda okumunoonyeza akalulu gy'atuumye ‘'Ttiimu Latif Ssebaggala Afaayo''.

Latif Ssebaggala ne mukyala we mu lukiiko.

Kyokka abamu ku bawagizi be bagaanyi okumwekwekerera ne bamulabula obutageza kunyooma Muhamed Ssegirinya gw'avuganya naye gwali naye ku mbiranye kubanga naye amaanyi ageewulira era baliko amagezi ge bamuwadde okuteeka mu nkola bw'aba waakuddamu okweddiza ekifo kino.

Ssebaggala agamba nti byakoze birabikako omuli: okulwanirira eddembe ly'obuntu nga y'ensonga lwaki n'abadde akulira ISO, Col. Kaka Bagyenda yagobeddwa kubanga gaali maanyi ge bwe yakulemberamu babaka banne okulaga ensi ebikolebwa mu ‘Safe Houses''

Abawagizi ba Latif nga bakutte ebipande bye.

Yeewaanye nti byakoze bibalaga lwatu nti musajja w'amaanyi era bw'omugerageranya ku basambi b'omupiira oyinza kumuteeka mu bateebi. Wano we yasabidde abalonzi okuddamu okumutuma abakiikirire era tebageza ne bakola ensobi okulonda banne b'avuganya nabo be yayise abalema.

Alumbye abamukolokota ku mikutu gya ‘Sosial Media' n'agamba nti bino bya bwereere tebiyinza kumuggya ku mulamwa kubanga alina misoni y'okutwala ekitundu kye mu maaso.