Ttiyaggaasi anyoose ewa Kisekka nga Poliisi erwanagana ne bamakanika

Ttiyaggaasi anyoose ewa Kisekka nga Poliisi erwanagana ne bamakanika

Ttiyaggaasi anyoose ewa Kisekka nga Poliisi erwanagana ne bamakanika abakedde okwekalakaasa nga bawakanya eky'okutimbululayo ebipande bya Bobi Wine mu bifo we bakolera.

Poliisi okutuuka okukuba mu basuubuzi omukka ogubalagala kiddiridde abamu ku basirikale okukeera mu katale kano nga baagala buli eyabadde ayambadde ovulo ng'eriko obubaka bw'ebyobufuzi okugiggyamu tebajagaala ekintu abasuubuzi kye baagaanye.

Poliisi erabye beeremye kwekutandiika okuyiwa basajja baayo okwetooloora akatale konna kyokka abasuubuzi tebabaganyiza kuyingira mu bizimbe mwe bakolera ne batandiika okubawerekereza amayinja nayo kwe kubaanukula ne ttiyaggaasi akwatiddemu ne nnakawere n'omwana we.  

Bya Lawrence Mukasa.