Musse ebbali ebyobufuzi tuweereze abantu - Minisita Kasolo

MINISITA omubeezi ow'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo akubirizza bannabyabufuzi okussa ebbali ebyobufuzi wabula bakolere wamu okusomesa abantu be bakulembera ku ngeri gye bayinza okweggya mu bwavu.





Kasolo okwogera bino abadde asisinkanye bakansala ba KCCA ku City Hall bw'abadde abanjulira enkola eyatongozebwa Pulezidenti Museveni mu kaweefube owookuyamba ku bantu okuyiga okutereka naddala abo abakola emirimu egifaanagana.

Pulogulaamu eno emanyiddwa nga EMYOOGA yaakuyambanyo Bannayuganda okuva mu mbeera emu okudda mu ndala nga bayita mu kuterekera awamu n'okwegatta mu bibiina ebyenjawulo .
Kasolo agambye nti ssinga abakulembeze bateeka ebyobufuzi ku bbali ne batandika okusomesa abantu engeri gye bayinza okwettanira enkola eno olwo Bannayuganda bangi baakweyagalira mu ggwanga lyabwe.
Oluvannyuma Kasolo agenzi e Nakawa n'asisinkana abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okuli abakulira aba takisi, aba Boda, aba Ssaluuni, ababazzi n'abantu abalala abakola emirimu egifaanagana olwo nabasomesa ebirungi ebiri mukutereka nengeri gyebayinza okutondawo ebibiina ku mitendera egyenjawulo.

Omukolo gwetabiddwaako munisita omubeezi owa Kampala Bennna Namugwanya, Omubaka wa Nakawa Munisipaali; Michael Kabaziguluka, ne bannabyabufuzi abalala abatunuulidde ebifo ebyenjawulo mu kulonda okujja.