Etteeka lya siriimu likyusibwe

SSAABALAMUZI wa Uganda, Alfonse Owiny-Dollo, ayagala Palamenti ekole amateeka aganaayamba okulwanyisa okusaasana kwa siriimu.

Omuwandiisi wa kkooti, Sarah Langa Siu.

SSAABALAMUZI wa Uganda, Alfonse Owiny-Dollo, ayagala Palamenti ekole amateeka aganaayamba okulwanyisa okusaasana kwa siriimu. 

Obubaka buno bwamusomeddwa omuwandiisa wa kkooti omukulu (Chief Registrar), Sarah Langa Siu, ku Lwomukaaga, ku mukolo ogw'okujjukira emyaka 30 bukya omuyimbi Philly Bongoley Lutaaya, eyasooka okulangira mu lwatu nti alina siriimu, afa. 

Yagambye nti etteeka lya 2014 eryakolebwa okulwanyisa okusaasaana kwa siriimu lyetaaga okwongeramu akawaayiro akatangira abantu okumala gasiiga bannaabwe akawuka, ate n'okutaasa abakalina. 

Yagasseeko nti abalwadde ba siriimu bangi bakoseddwa mu kiseera kino ekya Corona kuba babadde bakaluubirizibwa okutuuka mu malwaliro okufuna eddagala wamu n'okwetuusaako ebyetaago ebyobulamu obwa bulijjo. 

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'Obwapulezidenti, Esther Mbayo, mu bubaka bwe obwamusomeddwa omuteesiteesi omukulu mu minisitule eno, Hajji Yunus Kakande, yatenderezza Lutaaya olw'okubeera olwazi mu kulwanyisa siriimu, n'asaba Bannayuganda bonna okumulabirako. 

Akulira akakiiko ka ‘Uganda Aids Commission', Dr. Nelson Musaba, yasabye Gavumenti okubongeza ku ssente bosobole okusomesa abantu okukomya okuboola abalina siriimu. Muwala wa Lutaaya, Tezira Lutaaya, yasabye abantu bonna okwettanira okwekebeza, n'agamba nti kitaabwe okuvaayo mu lwatu ky'ayamba okutangira okusaasaanya akawuka.