Minisita agobye Kayongo mu katale ka Owino abasuubuzi ne batabuka

ABASUUBUZI n’abakulembeze mu katale ka St. Balikuddembe balayidde obutawaayo buyinza eri kitongole kya KCCA nga bwe baalagiddwa. Nga November 3, dayirekita wa KCCA, Dorothy Kisaka yawandiikidde abaddukanya kkampuni ya St. Balikuddembe Market Stales, Space and Lockup Shops Owners Association Ltd (SSLOA) n’abalagira okuwaayo obuyinza bw’akatale eri KCCA.

Omu ku basuubuzi mu katale ka Owino ng’atabuse.

 ABASUUBUZI n'abakulembeze mu katale ka St. Balikuddembe balayidde obutawaayo buyinza eri kitongole kya KCCA nga bwe baalagiddwa. Nga November 3, dayirekita wa KCCA, Dorothy Kisaka yawandiikidde abaddukanya kkampuni ya St. Balikuddembe Market Stales, Space and Lockup Shops Owners Association Ltd (SSLOA) n'abalagira okuwaayo obuyinza bw'akatale eri KCCA.

Kayongo.

Pulezidenti Museveni yalagidde Minisita wa KCCA okuggyako obukulembeze bw'obutale bwa Gavumenti bwonna balonde obulala olw'obulyake n'okunyuunyunta abasuubuzi obuzze bweyoleka mu bukulembeze obuliko. Wano, Kisaka we yasinzidde okuwandiikira Godfrey Kayongo Nkaja n'aba SSLOA ebbaluwa ng'abasaba obukulembeze bw'akatale babukwase KCCA esobole okulondesa abakulembeze abapya Kayongo n'abasuubuzi kye baagaanyi.

Ku Lwomukaaga, abasuubuzi baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ne bategeeza nti, KCCA yawubisiddwa n'ewandiika ebbaluwa nga tesoose kutuula nabo kuwulira bibavaamu. Aba SSLOA bagamba nti, mu 2009, Pulezidenti Museveni yalagira KCCA okuguza abasuubuzi ettaka okuli obutale era abasuubuzi ne beewola ssente mu bbanka ya DFCU obuwumbi buna n'obukadde 200 ne bagula akatale.

Omugagga Hassan Basajjabalaba naye akatale yali akaagala era ng'alina ssente ze yali ataddemu gavumenti n'emuliyirira n'akavaamu. Kayongo yagambye nti, okuva lwe baagula akatale ne kadda mu mikono gy'abasuubuzi, KCCA tekyalina buyinza ku katale n'alabula bwe baba baagala okukozesa amaanyi okuwamba akatale, bagende nga beetegese.

"Mu mateeka, tewali ngeri KCCA gy'esobola kutwala katale kubanga ebiwandiiko byonna kwe twakagulira tubirina naye bwe gaba maanyi bakisobola kyokka naffe tubalabula bajje mpola." Kayongo bwe yagambye. Mu bbaluwa ya Museveni yalagira kkampuni ezaagula ettaka okuli obutale ziriyirirwe ssente ze baasaasaanya era wano aba SSLOA we baasinzidde okugamba nti, tebayinza kuwaayo katale nga tebasoose kutuuka ku nzikiriziganya na KCCA ku ssente ze baagula akatale.

Bagasseeko nti, balina n'okukkaanya ku ngeri abasuubuzi abasoba mu mutwalo mulamba abaasonda ssente gye bagenda okusasulwamu ssente zaabwe ze baatekayo okwekulaakulanyiza akatale okumala emyaka egisoba mu 10. "Tetugenda kukkiriza obukulembeze bwa Kayongo kumala gawaayo buyinza bwa katale kaffe okuggyako nga gavumenti emaze okuyita mu mitendera emituufu", Jane Nabirye omu ku basuubuzi bwe yategeezezza.

Najja Ntulume, Wilson Sserwadda ne Jane Nassolo baalabudde pulezidenti Museveni ku bamafiya mu gavumenti abaamuwabya n'awa ekiragiro ekiggyawo enkola y'abasuubuzi okweddukanyiza obutale bwabwe kye bagambye nti kigenda kuddamu okuleetawo okusika omuguwa n'entalo.

Kayongo yagasseeko nti, abaawa Pulezidenti Museveni amagezi bwe gati mu kiseera ky'okulonda, baalubirira kumukyayisa bantu ekiyinza okumuviirako okufiirwa akalulu naddala mu bakolera mu butale.