Poliisi tugiragidde kukuba kutta abeekalakaasi - Gen. Tumwine

Gen. Tumwine.

Minisita w'obutebenkevu Gen. Elly Tumwine alabudde abeekalakaasi n'akiggumiza nti; Poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe biweereddwa obuyinza okukuba amasasi n'okutta omuntu yenna asangibwa nga yeetabye mu kwekalakaasa.

Tumwine eyabadde omukambwe yagambye nti bakizudde ng'abantu abeenyigidde mu katabangula eggwanga ku Lwokusatu n'Olwokuna baatendekebwa era balina obukodyo bwonna mu kutabangula ebyokwerinda by'eggwanga.

"Tetugenda kukkiriza bantu basirusiru kutabangula ggwanga lino emirembe, gye lirimu givudde ewala nga kati lye yagaza buli muntu nga n'amawanga amalala abaayo baddukira wano okufuna emirembe, " Tumwine bwe yategeezezza n'awera nti beetegefu okwahhanga bonna abeenyigira mu kuleetawo obutabanguko.

Tumwine yagambye nti, abakulembeddemu okwekalakaasa kuno baludde nga batendekebwa kubanga engeri gye baakoze ekintu yabadde nzibu kyokka ab'ebyokwerinda n'ebakkakkanya. "Okusibwa kw'omuntu omu tekuyinza kuleetawo butabanguko mu buli kitundu kya ggwanga, bano baludde nga beetegeka era batusanze tulagayizza, naye ku luno batuguddeko," bwatyo bwe yannyonnyodde.

Bino yabyogeredde mu lukungaana lw'abamawulire ku kitebe kya Gavumenti ekya Media Center mu Kampala ku Lwokutaano. Yagambye nti abeekyokwerinda bazudde nti amawanga g'ebweru gassa ssente mu baakuliddemu okwekalakaasa kuno okwalese abantu abasoba mu 28 nga bafuddenga n‘abalala banyiga biwundu.

Tumwine era yakikkaatirizza nti mu kiseera kino ng'abebyokwerinda tebejjusa kwabo abafudde kubanga tebamanyi ani yabasse nga n'abamu kisuubirwa nti baabadde bakuliddemu okwekalala kuno. Mu kunoonyereza ab'ebyokwerinda kwe baliko , Tumwine yagambye nti baazudde ng'abamu ku bannakibiina kya NUP balimu embeera z'ekiyeekera n'agamba nti tebayinza kukkiriza ggwanga kugenda mu mikono gy'abantu bwe batyo.

WALUKAGGA NE BANNE BAVUJJIRIRA ABEEKALAKAASI                                                                                                                                   Mu lukung'aana lwe lumu, mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti mu kiseera kino poliisi eri mu kulondoola bannakibiina kya NUP 300 abaakuliddemu okwekalakaasa kuno nga babadde bawa ebikozesebwa eri abeekalakaasi.

Bano kuliko omuyimbi Mathias Walukagga eyeesimbyewo ku bwameeya bwa Kyengera Town Council , Nkendi Malingolingo kansala mu munispaali y'e Nansana, Ashiraf Machete, Nusfah Nakato, Micheal Kulya, Loda amanyiddwa nga Maama Kampala ng'ono kigambibwa nti yaakulira obubondo bwa NUP mu bitundu by'e Bwaise ne Kyebando abalala.

Enanga era yagambye nti bali mu kunonyereza ku nnamba za Mobile Money ezigambibwa nti obwedda zitambuzibwako ssente wakati mu beekalakaasi okugula ebikozesebwa.

Mmotoka za Bobi Wine ze baakubamu ttiyaggaasi e Mbale.

POLIISI EGGYEEWO OKUKOZESA TTIYA GGAASI                                                                                                                                       Enanga era yagambye nti ebitongole by'ebyokwerinda biggyeewo enkola y'okugumbulula abeekalakaasi nga bakozesa ttiya ggaasi. Kino kikoleddwa kubanga bangi bassaalumanya babadde bakosebwa nga kati bagenda kukozesa bbatuuni kwabo abeenyigira mu kwekalakaasa babakube.

Ono era yagambye nti batandiise okunoonyereza ku mikutu gy'okumutimbagano egimanyiddwa nga ba "bbulooga" kubanga bano bakuma omuliro mu bantu ne bongera kusajjula embeera y'okwekalakaasa mu bantu.

LDU EKOMYEWO OKUKWASA KAFIYU                                                                                                                                                           Amyuka omwogezi wa UPDF Lt. Col. Deo Akiiki yagambye nti amagye ne LDU bakomezeddwaawo ku kkubo okukwasa amateeka ga kafiyu. Akiiki yagambye nti bakizudde ng'abeekalakaasi batandise okukola effujjo mu ssaawa z'ekiro kwe kusalawo bakomewo okuyambako poliisi bakwasise amateeka ga kafiyu.

Pulezidenti Museveni bweyali agonza ku muggalo yalagira boda boda okukoma okusaabaza abantu ku ssaawa 12:00 ez'akawungeezi ate mmotoka zikome ssaawa 3:00 ez'ekiro. Akiiki yagambye nti awatali kusibamu bagenda kuttukiza ebikwekweto kw'abo abamenya amateeka ga kafiyu. Ono yasabye abantu okugondera amateeka ago kubanga tewali gwe bagenda kuttira ku liiso.