Omubaka Ssewanyana ne banne bayimbuddwa

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 30 buli omu eza buliwo ate ababeeyimiridde obukadde 5 ezitali za buliwo. 

Bano baabadde mu maaso g'omulamuzi Jude Okumu owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye. Baamuwozesezza nga bakozesa tekinologiya  amanyiddwa nga ‘'Teleconferencing''. Baalagiddwa okudda mu kkooti nga December 16, 2020.

Omubaka Ssewanyana ku mpingu.

Ssewanyana ne banne buvunaanibwa omusango gw'okukuba olukung'aana oluteeka obulamu bw'abantu mu katabyaga kw'okukwatibwa obulwadde bwa Covid 19. Ssewanyana yakwatibwa poliisi y'e Katwe n'abawagizi be bana okuli Robert Musisi ,Ivan Wasswa. Isa Musisi ne Maria Nabwase.

Kigambibwa nti omubaka Allan Ssewanyana ne banne omusango guno baaguddiza ku Lwasa Trading Centre ku Salaama Road nga November 15 /2020.