
SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n'awa n'abakuumaddembe amagezi okukendeeza okukozesa eryanyi eriyitiridde ku bantu.

Bino yabyogeredde ku Lutikko e Lubaga mu kuziika Rev. Fr. Joseph Lumanyika Nsubuga abadde omulung'amya w'eby'eddiini ku ssomero lya St. Augustine College Wakiso. Dr. Lwanga asabye bannabyabufuzi okukomya okukozesa ebigambo ebisiga obukyayi mu bantu wabula bababuulire ebyo bye bagenda okubakolera kwe baba basinziira okubalonda.

Alabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa Covid-19 n'abasaba okugoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu era n'asaba abavubuka okukomya okukozesa olulimi olusiga obukyayi n'okwenyigira mu bikolwa eby'effujjo. Fr. Lumanyika yafa ku Lwakutaano obulwadde bw'omutima nga Ssaabasumba amwogeddeko ng'abadde ayagala ennyo Katonda, eddiini, omwetoowaze, omukkakkamu era omugabi.

OBUWEEREZA BWE Yafuna obudyankoni mu 1992 nga bwamuweebwa Kalidinaali Emmanuel Wamala ate mu 1993 yamuwa obusasorodooti. Aweerezza mu bigo eby'enjawulo okuli: Nsambya, Kikyusa, yakulirako ekitongole ky'abavubuka eky'essaaza nga waafiiridde nga yemulung'amya w'abayizi ku ssomero lya St.Augustine College Wakiso. (Ebif. Bya Ponsiano Nsimbi).