Enkuba egoyezza ab'e Kawempe

Agamu ku mayumba agaagudde ku Kaleerwe. (Ekif. Moses Lemisa)

ENKUBA eyatonnye ng'erimu kibuyaga ebambudde amabaati ku bizimbe mu munisipaali y'e Kawempe.

Abatuuze b'e Kyebando, Kanyanya , Mpereerwe, Kaleerwe n'ebitundu ebirala enkuba eyatonnye ku Lwokubiri abamu yabalese tebalina we basula ate abalala naddala abasula mu ntobazzi amazzi ne gabayingirira nga baasuze bayimiridde.

Kyokka omusango baagutadde ku KCCA gye bagamba nti tegolola myala mu budde ng'ate egisinga girimu kasasiro. John Ssenkaali ow'e Bwaise yagambye nti enkuba etonnya ennaku zino mbi ng'abantu bandibadde bagyerinda. Yagasseeko nti eyatonnye ku luno yabambudde amabaati ku mayumba g'abantu n'ebibanda by'amanda nga n'abamu bakyasobeddwa kubanga ne ssente ezizizzaawo tebazirina.