Poliisi mukomye okugumbulula enkiiko z'abeesimbyewo - Byabakama

Byabakama.

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye okugumbulula enkiiko z'abavuganya ku bwapulezidenti.  

Ebbaluwa eyafulumye akawungeezi ku Lwokuna, Byabakama yagambye nti afunye okwemulugunya okuva mu bamu ku bavuganya olw'engeri poliisi gyegumbululamu enkiiko ze baba bategese okusisinkaniramu abalonzi.  

Embeera emu agyerabiddeko ku mikutu gyamawulire ekiviiriddeko  okukuubagana wakati wa poliisi, n'abeesimbyewo awamu n'abawagizi baabwe.  

Byabakama ajjukizza poliisi nti abeesimbyewo balina eddembe okunoonya obululu era gye balina okubeera wakkirizibwa akakiiko.  

Awabudde poliisi yeemalire mu kukakasa nti enkiiko zigoberera amateeka g'ebyobulamu agalwanyisa Corona, mu kifo ky'okuziremesa okubaawo n'okulemesa abeesimbyewo okutuuka gye balina okubeera.