
Poliisi mu Kira Municipality eremesezza abantu abaabadde bakedde okwetaba mu misinde gy'amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka nga n'abamu abaabadde balemeddeko okudduka ebayodde n'ebaggalira mu kaduukulu ku poliisi ya Kira Division.

Bano baagezezzaako okulaga poliisi ebbaluwa ebakkiriza okwetaba mu misinde gino okuva mu offiisi y'omubaka wa Pulezidenti ow'e Kira naye nga tebabawuliriza.