Abavubuka mukomye okukola effujjo - Ssaabasumba

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo. Bino abyogeredde mu Lutikko e Lubaga bw'abadde akulembeddemu mmisa mwe yatongolezza omwaka gwa Bayibuli ogwa (2020 - 2021) n'akakiiko akagenda okukulemberamu ebigenda okukolebwa akakulirwa Viika.Genero wa Kampala, Msgr.Gerald Kalumba.

Aba St.Pauline Sister nga bakwasa Fr. Vincent Kato ekitabo kye Vangiri n'ebirabo ebirala mu mmisa.

Dr. Lwanga asabye buli muntu okukolerera emirembe naddala mu kiseera kino eky'akalulu. Yanokoddeyo abafumbo n'ab'ebyokwerinda be yasabye okukokomya okukozesa eryanyi eriyitiridde ku bantu nga bakwasisa amateeka.

Ssaabasumba Lwanga agamba nti Ssemateeka waffe akawayiro aka 29 kawa buli Munnayuganda eddembe okwekalakaasa mu mirembe nga balaga obutali bumativu  ku nsonga ezimuyigiriza olwo abakulembeze abali mu buyinza ne basobola okuwulira eddoboozi lye.

Abakristu nga batwala ebirabo.

''Abakuumaddembe okukuba n'okutta abantu abeekalakaasa mu mirembe kikyamu era kimyenya akawayiro 29 aka Ssemateeka w'eggwanga ssaako etteeka ery'okutaano mu biragiro 10 erigamba nti tottanga''. Ssaabasumba bwe yategeezezza.

Agamba nti ayagala buli maka gabeere ne Bayibuli ate bajjumbire okugisoma  buli lunaku ssaako okwefumiitiriza ku byawandiikibwa ebitukuvu wamu n'okunyweza amasakalamentu. 

Oluvannyuma yakwasizza abantu ab'enjawulo Bayibuli ng'akabonero akw'okutongoza omwaka gwa Bayibuli ogutandika mu January w'omwaka ogujja.

Nga tannatandika mmisa, yasoose kukoleeza musubbaawa ng'akabonero akaggulawo obudde bwa matuuka.