Wano nvaawo na guleeda - Amuriat

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi. Kino kiddiridde poliisi okuggala oluguudo mu kitundu ky'e Muganza ku kidda e Cyanika awali ensalo ya Uganda ne Rwanda. Olumulemesezza okweyongerayo kwe kusalawo okutuula mu luguudo wakati n'abawagizi be nga bwawoza nti bwe bataleeta guleeda tajja kuvaawo.

Abaserikale nga basazeeko Amuriat. (Ebif. Stuart Yiga).
Abaserikale nga beebunguludde Amuriat okumulemesa okweyongerayo.

Aduumira Poliisi mu disitulikiti y'e Kisoro, Patrick Byaruhanga ategeezezza nti Amuriat abadde teyakoze nteekateeka zakugenda mu kitundu kino bwatyo n'amuwa amagezi olukung'aana lwa kampeyini n'alukuba mu kisaawe ky'oku ssaza mu Munisipaali y'e Kisoro.