Omusumba Joel Kakembo akunze abasumba okwetaba mu lukung'aana lwa 'Love Family Day'

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba mu lukung'aana lw'okwagala olutuumiddwa 'Culture of honor and love family day' olugenda okubaawo nga 3 December 2020 ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Bishop. Kakembo agamba nti yalung'amizibwa mwoyo mutukuvu okutegeka olukung'aana luno olw'okuwagalana n'okuwang'ana ekitiibwa n'ekigendererwa okugatta abasumba okuva mu makanisa ag'enjawulo okubeera obumu mu Kristo Yesu nga Yesu yennyini bwe yakyogerako mu Yokaana 17 ng'asaba omubiri gwa Kristo okubeera obumu.

Bp. Kakembo nga y'atwala amakanisa ga Mt. Zion agenjawulo agamba nti ekigenderwa ky'olukung'aana luno kwe kulaba nga bamenya omwoyo w'obutawang'ana kitiibwa nga Abasumba abaayitibwa mu kisibo kya Kristo okulyowa emyoyo n'okumenya omwoyo w'okuvuganya mu basumba abenjawulo.

Agamba nti baagala okulaba nga n'abakedde mu bitundu ebyenjawulo wamu ne basajja bakatonda wamu n'abakyala abakulanye mu myaka ne mu kigambo baweebwa ekitiibwa.

" Olunaku lw'okwagalana nga abooluganda mu Kristo lugendereddwa kugabana emikisa n'Love family day means to love and acknowledge each other and share opportunities to one another.

Olukung'aana lwasooka kutegekebwa nga 29th / September/2020 ku FAIRWAY HOTEL mu Kampala era luddiddwaamu omulundi ogwokubiri nga ku luno lutegekeddwa Kasangati ku Resort Hotel nga 2nd / December/2020.

Aboogezi abakulu ye: Apostle Dr. Jonh Bunjo, Paasita Irene Manjeri, Bishop Edward Lubwama ne Dr. Robert Kamanda.

Okuyingira 30,000/-.