Muto wa Paasita Bugembe aleese 'Akalulu'

Dr. Brian Ddumba.

Paasita Bugembe mukulu wa Dr. Ddumba.

Ddumba aleese vidiyo y'oluyimba lwe Akalulu, akake akawadde Yesu Dr. Brian Ddumba omuyimbi nkubakyeyo, Munnayuganda abeera mu Amerika afulumizza vidiyo y'oluyimba lwe olupya lwatuumye ‘'Akalulu''. 

Ddumba muyimbi wa nnyimba za ddiini ku bika eby'enjawulo okuli:  Ragga Dance hall, Afro ne RnB. Agamba nti wadde oluyimba luno alutuumye ‘Akalulu'' si lwa byabufuzi wabula lwa ddiini olukunga abantu okulonda Yesu ng'omukulembeze waabwe.  Ddumba muganda wa Pasita Wilson Bugembe. 

Mu luyimba luno akulaga nti ye akalulu ke akawadde Yesu ng'era mwayisizza obubaka obukubiriza abantu bonna okulonda omwana wa Katonda ono abeere omukulembeze w'obulamu bwabwe ow'olubeerera kubanga yasinga mu kifo ky'okulwanira ebintu by'ensi.

Luno alugasse ku luyimba lwe yasooka okufulumya mu biseera by'omuggalo lwe yatuuma ‘'Ekyama''. Alabudde abantu abalowooleza mu bintu by'ensi n'okuwoza nti Yesu taliiyo n'abalabula nti oba bwe mulimusanga mu ggulu mulikola ki? Oluyimba luno lugenda luti:Kalulu Kalulu tugende...tulonde, omutuufu yonoooo.

Akalulu akange nkawadde gwe, akalulu nkawadde Yesu. Brian Ddumba alina n'ennyimba endala okuli: Future eri mu Katonda, Yesu gwe Airtime, Essanyu, Ddagala n'endala nnyingi.