Amuriat alumbye Museveni okweggyako Kayihura ne Mbabazi

PATRICK Oboi Amuriat, avuganya ku bwapulezidenti ku kaadi ya FDC alumbye Pulezidenti Museveni olw’okweggyako egimu ku mikwano gye egimuyambye okuwangaala mu buyinza. Yawadde ekyokulabirako ekya Dr. Kizza Besigye, eyali omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura, eyali katikkiro John Patrick Amama Mbabazi, ne Gen. Henry Tumukunde.

Amurit (ali mu bigere) mu mmisa gye yeetabyemu mu Eklezia ya Christ the King e Kabaale.

Amurit ng'ayita mu kibuga ky'e Mbarara.

PATRICK Oboi Amuriat, avuganya ku bwapulezidenti ku kaadi ya FDC alumbye Pulezidenti Museveni olw'okweggyako egimu ku mikwano gye egimuyambye okuwangaala mu buyinza. Yawadde ekyokulabirako ekya Dr. Kizza Besigye, eyali omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura, eyali katikkiro John Patrick Amama Mbabazi, ne Gen. Henry Tumukunde.

Bino okubyogera yabadde asisinkanye abawagizi be mu Ggombolola y'e Nyakabande, we bazaala Kayihura. Bwe yabadde ayingira Disitulikiti y'e Kisoro, Poliisi yasudde emisanvu mu kkubo ng'eyagala abantu abaamuwerekeddeko basooke kukeberebwa kirwadde kya ssennyiga omukambwe.

Amuriat eyabadde tasalikako musale yavudde mu mmotoka ye n'atandika okuggyawo ebyuma ebyabadde bisuuliddwa mu kkubo bwatyo n'ayingira n'oluseregende lw'emmotoka ze ku mpaka nga Poliisi emutunuulidde. Aduumira Poliisi mu disitulikiti y'e Kisoro, Patrick Byaruhanga, yagezezzaako okumulemesa okukuba kampeyini ng'amulanga okubayisaamu amaaso. Oluvannyuma yatutte basajja be mu kabuga k'e Muganza, n'asalako oluguudo oludda e Cyanika ku nsalo ya Uganda ne Rwanda.

Amuriat, yavudde mu mbeera n'afuluma mu mmotoka ye n'atandika okutambuza ebigere okwolekera Cyanika. Wabula DPC Byaruhanga teyamuganyizza kutuuka wala n'alagira basajja be ne bamwetooloola kye yakoze n'atuula wansi wakati mu kwecanga.

Yasabye omuzindaalo n'ayongera eri abawagizi be bakira abaleekaanira waggulu nga bwe basaakaanya. Oluvannyuma yagenze n ku kisaawe ky'oku Ssaza mu Munisipaali y'e Kisoro, we yakubye olukuhhaana n'ayogera n'abantu wakati mu byokwerinda eby'amaanyi.

Amuriat, yagenze mu bitundu eby'enjawulo mu Kisoro n'amala n'ayolekera disitulikiti y'e Rubanda, ne Kabale. Ku Ssande, Amuriat, yakedde mu mmisa ku Eklezia ya Christ the King esangibwa mu Munisipaali y'e Kabale.

Amyuka bwanamukulu wa Christ the King Parish, Faaza Mathias Kwehangana, yasabye abeesimbyewo ku bifo eby'enjawulo okwewala okusuubiza bye bataatuukirize. Yasabye akakiiko k'ebyokulonda nabo okulaba nga bategeka akalulu akalimu amazima n'obwenkanya kireme kuviirako butabanguko mu ggwanga.

Amuriat eyabadde mu bigere nga tayambadde ngatto. Yasabye abantu mu bitundu bya Kigezi bamuwagire kuba ebintu bingi byayigidde ku mwana waabwe Dr. Kizza Besigye, by'ayagala abakolere ng'afuuse Pulezidenti.