Gwe nnafuna okuwona obuwuulu yanfuula bbanka

BW'OSANGA omuvubuka ng'alemedde mu buwuulu tomunenya. Abakazi abamu tebaafuna kubuulirirwa era tebamanyi ngeri gye balina kweyisaamu nga bafumbiddwa.

Kigongo.

BW'OSANGA omuvubuka ng'alemedde mu buwuulu tomunenya. Abakazi abamu tebaafuna kubuulirirwa era tebamanyi ngeri gye balina kweyisaamu nga bafumbiddwa.

Nze Abasi Kigongo 25, mbeera mu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe. Nawuliranga abantu bagamba nti okufuna omukazi omutuufu guba mukisa ng'era Katonda y'aba amukusiimidde, naye nze gwe yampa yantamya obufumbo ne ntuuka n'okutya abakazi.

Obulamu bwange obusinga mbadde muwuulu naye ku ntandikwa y'omwaka guno, nafuna omuwala. Mu kumukwana, yandaga empisa era ng'ampa ekitiibwa naye bwe namuteeka awaka okutandika obufumbo n'afuuka ekizibu. Mwana muwala ono kituufu yali mulungi mu ndabika naye obufumbo bwaffe tuba twakabutambuzaako wiiki emu, n'atandika okumpa amateeka nga mwe muli n'okunsalirawo essaawa ze nnali nnina okudda awaka nga nvudde ku mulimu.

Teyakoma awo, nga buli kiseera abeera ambuuza ebikwata ku mukazi gwe twayawukana naye. Era nga buli ssimu yange lw'evuga aba ayagala okumanya ankubidde era bw'aba omukazi ng'ambuuza ky'abadde anjagaza. Amazima omuwala nali mmwagala ng'era ndi mu nteekateeka za kuntwala mu bazadde be.

Empisa zino ze yandaga, natuuka ekiseera nga ntya n'okudda awaka anti nga buli lw'andabako tabulwa kimuyombya. Ate nga bwe wabaawo kye yantumye ne sikireeta olwo teruggwa anti ne bw'azuukuka we yakomye w'atandikira.

Bwe namuwasa nnali mmanyi mponye ekikomando naye omukyala ono, namulekeranga ssente ez'okufumba emmere nga tafumba, nasula enjala enfunda eziwerako ate nga bw'omubuuza lwaki teyafumbye ng'anziramu kimu nti hhende maama wange anfumbire.

Bulijjo ngoberera omuko gw'Ebituuse ku bantu mu mukwano mu Bukedde ng'ebimu ndowooza bya bulimba naye byamala kuntuukako ne mmanya nti ddala abantu basula bubi. Nsaba abawala bonna abatannafumbirwa bafune okubuulirirwa engeri gye bakwatamu abasajja.

Amazima obulungi bw'omukazi, abasajja tulina kugoberera mpisa so si ffiga!