Naro eweze okutumbula ebyenfuna bya Bannayuganda

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’ebyobulimi n’obulunzi mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organization (NARO) kikubirizza Bannayuganda okwongera okulunda enkoko ennansi olw’emigaso emingi egifumbekedde mu nkoko zino.







Bino byogeddwa Dr. Yonna Baguma amyuuka akulira NARO mu Uganda bweyabadde atongoza enkola ey'okulwaanyisa enjala n'obwavu naddala mu bitundu eby'amambuka ga Uganda  nga omukolo guno gwabadde ku kitebe kya NARO ettabi erye Mukono.

Dr. Baguma bweyabadde atongozza enkola eno emanyiddwa nga  Development Initiative for Northern Uganda (DINU), yagambye nti  singa Bannayuganda banaatandika okulunda enkoko ennansi eziva mu NARO embeera y'ebyenfuna byabwe ejja kutumbula olwo n'obukamu bwabwe busobole okubeera obulungi.

Ono yagambye nti ekika ky'enkoko NARO ky'ereese ekya ‘Elite chicken'  kyakuyamba Bannayuganda okufuna ssente nga bazitunze ate n'abanaazigula bajja kuganyulwa okulya enkoko ejjudde ebiriisa.

Ono yakubiriza bannayuganda  bulijjo okwettanira okulima n'okulunda ebisolo ebiba bivudde mu NARO kubanga bino biba ku mutindo ogwetaagisa ekiyamba abalunzi okuganyulwa ennyo.

Abas Kigozi akulira enkola eno ey'okulwanyisa obwavu n'enjala mu mambuka ga Uganda yagambye nti  ensonga lwaki ekitongole kya  NARO kyaleese   enkonko zino, ky'ayagadde abantu okulunda enkoko ezikula amangu ate nga zibiika amagi mangi okusinga ku zaabulijjo

Kigozi yagambye nti obutafananako na nkoko ndala, enkoko ennansi za nkizo nti tezimala galumbibwa bulwadde ate nga zikekkereza n'emmere bw'atyo n'akubiriza bannansi okuzirunda basobola okwongera okuganyulwa okuva mu bulunzi bw'enkoko zino.

Julius Kakiiza om uku balunzi b'enkoko ennansi agamba nti enkoko zino ezireteddwa NARO zigenda kubayamba nnyo okwongera ku bungi wamu n'omutindo gw'enkoko ennansi mu ggwanga.

MVV Maastricht