Vision Group esiimye abasomesa abasukkulumye ku bannaabwe

KKAMPUNI ya Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Ireland mu Uganda, basiimye abasomesa 12 abasukkulumye ku bannaabwe mu buweereza, omwaka 2020.

Abasomesa omukaaga abaanywedde mu bannaabwe akendo. Mu maaso okuva ku kkono; Ernest Kavulu, Raymond Kigongo, Norah Anyait, Sr. Pross Nantege, Buluhani Mulongo ne Sr. Theopista Namukasa.

KKAMPUNI ya Vision Group ng'eri wamu n'ekitebe kya Ireland mu Uganda, basiimye abasomesa 12 abasukkulumye ku bannaabwe mu buweereza, omwaka 2020.

Robert Kabushenga akulira Vision Group yasiimye abavujjirizi abassa ssente mu mpaka zino okuli; ekitebe kya Ireland, Trocaire, Simba Travelcare n'abakozi ba New Vision be yagambye nti singa tebabadde bo tekyandibadde kyangu kutegeka mpaka zino.

Yasoomoozezza abasomesa okwongera okubeera abayiiya naddala mu mbeera eno ng'amasomero maggale olw'obulwadde bwa Covid 19. Barbara Kaija, omukung'aanya omukulu owa Vision Group yagambye nti amannya g'abasomesa 700 ge geetaba mu mpaka zino.

Ku bano, 60 be baafuna omukisa oguwandiikibwako ebibakwatako era kwe kwalondeddwa abawanguzi 12. Ebimu ku byesigamiziddwaako nga balonda abawanguzi y'engeri omusomesa gy'akubirizaamu abazadde okutwala abaana mu ssomero, obusobozi bw'okweyambisa ssente entono okutumbula omutindo, okuwagira ebyemikono era ng'akola ebyenjawulo okusinga ku by'alina okukola.

Omubaka wa Ireland mu Uganda, William Carlos yayozaayozezza abawanguzi n'agamba nti bajja kugenda mu maaso n'okuwagira empaka zino. Abawanguzi omukaaga n'abalala omukaaga abaawangula omwaka oguwedde yabasuubizza nti okutwalibwa olumu ng'embeera ya Corona eteredde.

Abawanguzi baaweereddwa ebirabo okuli akakadde kamu n'ekitundu buli omu, kompyuta y'essomero ne satifikeeti. Kyokka omukaaga abaasukkulumye, baakusasulirwa byonna bagende okulambula mu Ireland.

ABAAWANGUDDE                                                                                                                                                                                             1. Sister Teopista Namukasa akulira St. Mary's Immaculate e Villa Maria mu disitulikiti y'e Kalungu ye muwanguzi w'omwaka. Yasiimiddwa olw'okulinnyisa omuwendo gw'abayizi okuva ku 250 okutuuka ku 899 era nga bayitira waggulu. Yatandikawo enkola y'okuwa abasomesa ebirabo okusinziira ku ngeri gye bayisizzaamu abayizi. Essomero yalifunira ttanka z'amazzi bbiri ng'emu y'abayizi ate endala eyamba bantu b'omu kitundu. Awangulidde essomero ebirabo by'okuyimba, eby'obuyonjo n'ebirala.

2. Ernest Kavulu akulira Buddo Junior School yakutte kyakubiri. Yasiimiddwa olw'enkulaakulana gy'atadde mu ssomero okuva lwe yatwalibwayo oluvannyuma lw'okukwata omuliro mu 2009. Abayizi be yasanga 500 kati bali 1,530. Abayizi bayize ebyemikono ng'okutunga, okukuba ebivuga, emirimu gy'omu mutwe era nga n'essomero alizimbye buggya.

3. Sister Prossy Nantege yakutte kyakusatu era nga ye yasinze mu disitulikiti ye Amudat. Afubye okuyigiriza abayizi ebyemikono, abayizi abawala beeyongedde. 4. Bruhan Mulongo owa Hama Island Primary School e Namayingo. Essomero we yalyegattirako mu 2015 nga lisigazza abayizi bataano bokka kyokka we baggalirawo nga bali 877.

5. Norah Anyait owa Matanyi Primary School mu disitulikiti ye Napak. Yatandika eby'okulunda ku ssomero era abaana abawala be beekolera obuwero bw'okweyonja.

6. Raymond Kigongo owa St. Joseph Nkooko e Kakumiro yatandikawo pulogulaamu ku leediyo kw'akungira abazadde okuweerera.

7. Moses Namisi omusomesa wa Kifuyo SSS e Namayingo.

8. Christine Adong heedimasita wa Ogor Community SS.

9. Buker Hakizumwami.

10. Peace Ruzaza.

11. Matovu Odonge owa Banda Primary School e Namayingo.

12. Miriam Birakwate owa Luzira