
Pulezidenti w'ekibiina kya NUP alidde kkava ekintu ekibadde ng'esasi bwe kimuyise ku mutwe. Mu kiseera kino abadde avudde mu mmotoka ye ng'abuuza abaserikale lwaki batta abantu na lwaki baagala okumutta. Yabadde akyayogera n'awulira ekibwatuka n'alya kkava. Bino bibadde Kayunga leero. (Ebif. Bya Moses Nsubuga)

Agenze okudda waggulu ng'omukuumi we Afande Kato eyamuweebwa akakiiko k'ebyokulonda ne Polodyusa Dan Magic bali ku ttaka bafuuwa musaayi. Kigambibwa nti amasasi agaabadde galina okukwata Bobi Wine gaakutte bano.

Bobi Wine yabayoddeyodde n'abatwala mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi kyokka nga bali mu mbeera mbi. N'emmotoka ya Bobi Wine yakubiddwa amasasi n'eyabika omupiira n'okwasa endabirwamu y'omu maaso.

Amasasi we gaayise omubaka Zaake we yabadde atudde era naye alula.