Okulonda abakulembeze b'akatale k'e Wandegeya kuyiise

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde galina okugobererwa mu kulonda nga bagamba nti simalambulukufu.

Abaserikale nga bakoze olugo olulemesa abantu okukola effujjo.

Okutuuka okuva mu mbeera kiddiridde minisita Benny Namugwanya okubasomera amateeka agalina okugobererwa mu kulonda ng'omukozi wa gavumenti yenna takkirizibwa kuvuganya kyokka omu ku babadde bavuganya ku kifo kya ssentebe Mawejje Mutesaasira  abadde ssentebe w'ekyalo kya  Wandegeya zooni  ekimugye mu lwokaano olwo abawagizi be ne bava mu mbeera.

Omukazi nga yeesindika n'abaserikale e Wandegeya.

Oluvannyuma minisita abasabye ateekebwe  ku lukiiko kyokka n'oludda olulala olwa Ceasar  Joseph nabo ne bakiwakanya  era wano wabaddewo okusikang'ana ebitogi okukkakkana nga minisita okulonda akuwummuzza.

Abaserikale nga bagobaganya abantu.

Ekizzeeko minisita Benny Namugwanya  n'alangirira ng'olukiiko lwa KCCA bwe lweddizza okukulembera akatale kano okutuuka nga bamaze  okukkaanya ku nnonda bwenaaba.