
Abantu mu bitundu by'e Iganga beeyiye ku nguudo bwe bawulidde nti omukulembeze w'ekibiina kya NUP era avuganya ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine bwe yabadde anaatera okutuuka.

Obwedda bamulindiridde bwe bayimba ennyimba ezimuwaana nti, ‘‘twagala Bobi si ssente''. Kino kiddiridde abantu bano okukitegeera nti Bobi abadde agenda kuyitira awo ng'agenda mu disitulikiti y'e Budaka gy'agenda okukubira kampeyini ze leero.

Nga bulijjo n'obummotoka bwa poliisi bwamwegasseeko dda bugenda bukuba abantu ttiyaggaasi nga babagobaganya obutabeera kumpi n'oluguudo nga Kyagulanyi ayitawo.