Musabire eggwanga nga twetegekera akalulu ka 2021 - Bp. Kakembo

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya Kristo nga tuyingira omwaka 2021 ogw'okukuba obululu.

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya Kristo nga tuyingira omwaka 2021 ogw'okukuba obululu.

Enteekateeka ya Culture of Honor and Love Day ku mulundi giuno yayindidde Resort Hotel e Kasangati ku Lwokusatu ng'ewomeddwaamu omutwe omuteesiteesi Bishop Joel Kakembo ng'ono y'atwala amakanisa ga Mount Zion mu Uganda.

"Tuzze okubeera nga tuteekebwateebwa abasajja ba Katonda okulaba nga tukulembera ekisiibo kya Kristu omwaka ogujja nga tuli bakkakkamu nga tulina omwoyo wa Mukama. Ekirala omwaka ogujja mwaka gwa byakulonda n'olwekyo twagala okulung'amya obulungi ekkanisa okulaba ng'abantu basigala bakkakkamu nga tebagenda na jjengo lya bannabyabufuzi abamu babifiire namu," Bp. Kakembo bwe yannyonnyodde.

Yayongeddeko nti ebigenda mu maaso mu kadaala k'ebyobufuzi binakuwaza  ekibawalirizza nga abasumba okubakagana n'eddimu ly'okusabira eggwanga okulaba ng'okulonda kubaawo mu mirembe ate ne muggwa mu mirembe.

"Bwe tulaba abantu abafa amasasi, abamu abakazi balina embuto ate ne babakuba ttiyagaassi ebyo nno bijja olw'okuba abantu bagezaako okulaba nti bafuna kye baagala, balina bye be bawagira be balowooza nti waliwo abali mu buyinza ababagaanyi okubawagira nga bwe baagala oba okutuuka mu bifo gye balina okukubira kampeyini. Kati tusaba Gavumenti ne Poliisi okuddirizaamu ku bukambwe bwayo ate ne tusaba n'abalonzi nabo baddirize ku ngeri gye bayuwawo omubiri," Bwa'tyo Bp. Kakembo bwe yayongeddeko.

Abamu ku  boogezi abeetabye mu kusaba kuno kwabaddeko; Omutume Dr John Bunjo, Bp Edward Lubwama, Dr Robert Kamanda ne Dr Daniel Batambuze abaakuutidde abasumba abalala okubeera obumu ng'ekkanisa ya Kristo nga tuyingira 2021 mu maanyi n'okulung'amya obulungi ekisibo kya Kristu.