Bannabyamizannyo abattiddwa mu bukambwe

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde 'The Bombers' , amasasi agaamuttiddewo. Leero nkuleetedde bannabyamizannyo abagudde ku bibambulira ebyefaananyirizaako kino;

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde 'The Bombers' , amasasi agaamuttiddewo. Leero nkuleetedde bannabyamizannyo abagudde ku bibambulira ebyefaananyirizaako kino;

Kiwanuka

GERALD KIDDU Ono yali nnakinku mu kuvulumula mmotoka z'empaka mu myaka gy'e 90. Yali yapaatiikibwako lya 'The Dare Devil' ng'avuga mmotoka ekika kya 'Golf GTI'. Mmotoka ye yalabika ng'empewufu ku za banne nga Sam Ssali, Emma Kato, Karim Hirji ne Yusuf Karmari, bwe baali bavuganya, wabula mu buli mpaka ze yeetabangamu teyasussanga kyakusatu, ekyamufuula omuganzi mu bawagizi. Wabula nga May 15,1997 abajambula baamumiza omusu ne baleka abawagizi mu maziga n'ebiwoobe.

JOSEPH JOLLY 'JOE' KIWANUKA Ye yali emabega w'okutandikawo Express FC mu 1959 ng'ali wamu ne Bishop Dunstan Nsubuga, Gaster Nsubuga, Hannington Kiwanuka ne Paul Sengendo. Erinnya lya kiraabu eno lyaggyibwa ku lupapula lwa 'Uganda Express Newspaper' lwe yatandikawo.

Kiwanuka era yali mpagiruwaga mu kutandikawo FUFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga, mu 1968 wamu ne liigi. Ye mutendesi wa Express eyasooka (1959 -1973) ne ttiimu y'eggwanga, 'The Cranes' mu 1961 ne 1962. Yali teyeerya ntama nga baamukazaako lya 'Nnaamwatulira' era ng'atiibwa nnyo.

Kino kyeyoleka mu 1965 bwe yalagira kiraabu ya Bitumastic okuwerwa ate ne Express bwe yawandulwa Young Salumbey (3-2) mu 'Luwangula Cup', bwe yakomawo okuva e Bulaaya n'alagira omupiira guddibwemu. Mu gwaddibwamu, Express yawuttula Young Salumbey (5-0). Mu 1973, Kiwanuka yabuzibwawo abajaasi abaali bateeberezebwa okubeera aba Gavumenti ya Idi Amin oluvannyuma n'asangibwa ng'attiddwa.

SHABAN MWINDA Yali nnakinku mu kulengera obutimba mu myaka gy'e 80 naddala mu kiraabu ya NIC ne Nakivubo Boys, ekyamuleetera okupaatiikibwako erya 'Shah'. Mu Buwarabu, erinnya lino liweebwa omuntu ow'oku ntikko, oba omukulembeze.

Omupiira yagutandikira mu NIC FC mu 1976 nga wa myaka 18 ate mu 1979 n'ayitibwa mu Cranes, nga mulungi mu kutomera emitwe. Yali musaale nga Nakivubo Boys (Villa) esuumuusibwa mu liigi ya babinywera mu 1978, bwe yasaliza Abbey Mutanda omupiira gwe yateeba nga bawangula Mountains of the Moon (1-0).

Yawangulira Villa ebikopo bya liigi 2 (1982,1984) ne Uganda Cup 1 (1983), wabula n'atemulwa mu 1985 nga wa myaka 24. Nga October 10,1985, Mwinda, eyali asenguka, yalumbibwa owemmundu eyamulagira okuwaayo ensawo gye yali akutte, bwe yagiremera n'amusasira amasasi agaamuleka ng'ataawa n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya, gye yafiira nga October 12.

FRED ISABIRYE Yayitanga ku lugoba olwa kkono mu Simba FC ne Cranes mu gy'e 70, ate n'agattako okubeera omujaasi mu ggye lya UNLA. Yali mulungi mu misinde ate nga wa maanyi mu kusaza emipiira . Nga November 13,1977, yayitibwa ku Cranes omulundi ogusooka, ekyewuunyisa abawagizi b'omupiira kuba yali akyali mulenzi muto nga talina bumanyirivu.

Mu AFCON ya 1978 e Ghana, Isabirye yayongera okwewuunyisa abawagizi bwe yatandika emipiira gyonna mu ttiimu eyalimu bassita nga Jimmy Kirunda, Eddie Ssemwanga, Paul Ssali, Polly Ouma, Ahmed Doka, Moses Nsereko ne Abbey Nasur ate nga Barnabas Mwesiga, abangi gwe bali baalinamu essuubi atandikira ku katebe. Mu 1979, waabalukawo olutalo wakati wa UNLA n'amagye ga Tanzania, ag'abakomboozi era mwe yafiira.

ISMAIL TABAN Taban yali musambi mu Tobacco FC mu gy'e 80. Nga July 27,1985, FUFA yateekawo emipiira ebiri e Nakivubo; Ogwa Tobacco ng'ekyaza BOU, ne KCC ng'ezannya Express. Mu mupiira ogwasookawo, nga Tobacco ekyakulembedde BOU (1-0), amagye ga UNLA agaali gaakawamba Gavumenti, gaazingako ekisaawe abawagizi n'abazannyi ne babuna emiwabo.

Abazannyi ba Tobacco baalinnya mmotoka okubazzaayo e Jinja awaali amaka ga kiraabu, wabula mu kkubo ne basangayo abajaasi ba Obote abaali bakoze loodibulooka. Bano baawamba mmotoka yaabwe kwe kusalawo okutambuza ebigere. Eno essasi gye lyakwatira Taban, n'afa.

PAUL OLIA Yali muzibizi mu Police (1979-1982) ne Nile 'omuliro', (1983-1985), mwe yasinga okukolera erinnya. Mu 1985, yattibwa bwe yakubwa akatayimbwa ku mutwe.

MOSES NSEREKO Yali yakazibwako 'Kisolokyamaanyi' era abalibwa mu bawuwuttanyi abakyasinze okuba ab'omutawaana mu Uganda naddala mu gy'e 70 n'e 80. Yazannya mu AFCON ya 1976 ne 1978 nga mu mpaka zombi y'omu ku baali batandikirwako.

Omupiira yagutandika mu 1970 nga wa myaka 18 mu KCC FC era gye yasambira yokka okutuusa lwe yannyuka ku myaka 29. Nga KCC esitukira mu kikopo kya liigi mu 1981, Nsereko ye yali omutendesi, n'assaawo ekyafaayo eky'omutendesi akyasinze obuto okuwangula ekikopo kino okuva bwe yatandikibwawo mu 1968.

Mu 1991 ng'ali wamu n'eyaliko muzannyi munne mu KCC, Fred Mugisha, baagenda e Nkokonjeru okulaba omupiira ogw'omukwano. Baba baaka-tuuka e Wampeewo, abazigu ne baboolekeza amasasi agaamukwata mu kifuba n'olubuto ne gamuttirawo.

OKELLO KARAMA Yali muteebi wa Nile FC mu gy'e 80. Yakubwa amasasi agaamuttirawo ng'ali e Gulu, mu 1985. kigonyageorge13@gmail.com 0772832149.