Amateeka 8 agattisa ggoolo ya peneti

MU MPAKA z'Amasaza eziri e Njeru, omupiira gwa Buddu ne Gomba gwawedde ggoolo 1-1. Mu ddakiika eya 57, ddiifiri Nasser Muhammad Kirya yagabidde Buddu peneti, eyabadde entuufu ddala oluvannyuma lw'omuzibizi wa Gomba okusindika omuteebi wa Buddu mu ntabwe.

Angello Kizza yakubye peneti n'enywa kyokka ddiifiri ggoolo n'agitta oluvannyuma lw'okulaba omuzannyi wa ttiimu ye (Ssematimba) ng'ayingidde entabwe nga Kizza tannakuba mupiira! Omuzanyi yenna okuyingira entabwe nga peneti tennakubwa, tekikkirizibwa era guba musango. Ekyo kye kyattisizza ggoolo ya Gomba (Kizza gye yabadde atyeebye).

Ebisobyo mu kusimula peneti biri munaana (8) era bye bino;

1 Omuzannyi wa ttiimu ekubwa peneti bw'ayingira entabwe nga peneti tennakubwa, ggoolo bw'enywa, ebalwa. Peneti bw'egaana, ddiifiri eragira n'eddibwamu.

2 Omuzannyi wa ttiimu ekuba peneti bw'ayingira entabwe nga peneti tennakubwa, omupiira ne gunywa, ggoolo tebalwa olwo peneti n'eddibwamu. Singa peneti egaana ng'omuzannyi omulala owa ttiimu egikubye y'ayingidde entabwe, ddiifiri agabira ttiimu endala ‘indirect free kick'.

3 Abazannyi ba ttiimu zombi bwe bayingira entabwe nga peneti tennakubwa, ggoolo bw'enywa oba okugaana, peneti eddibwamu.

4 Ggoolokipa bw'akola ekisobyo (kiri kimu kyokka kya kuva ku layini), entaputa ya wano si nnyangu nnyo. Peneti bw'enywa, ggoolo ebalwa. Wabula bw'egaana nga nga ggoolokipa takoonye ku mupiira, peneti teddibwamu.

Kyokka ggoolokipa bw'akola ekisobyo (n'ava ku layini nga tebannakuba), peneti n'agiggyamu, eddibwaamu n'aweebwa ne kaadi eya kyenvu era bw'addamu okukola ekisobyo kya kaadi eya kyenvu endala, afuna kaadi emmyuufu.

5 Ggoolokipa n'omuzannyi akuba peneti bwe bakola ebisobyo, ggoolo bw'enywa, ddiifiri agitta n'awa ttiimu ebadde ekubwa peneti ‘indirect free kick' ate omukubi wa peneti n'aweebwa kaadi eya kyenvu. Kyokka peneti bw'egaana, eddibwamu era ggoolokipa n'akubye peneti ne bafuna kaadi eya kyenvu.

6 Omukubi wa peneti okuzza omupiira emabega we, tekikirizibwa. Munne bw'aguzzaako ne gunywa oba obutanywa, ddiifiri ayimiriza omuzannyo n'awa ttiimu ebadde ekubwa peneti ‘indirect free kick'.

7 Waliwo okukanga ggoolokipa okukkirizibwa n'okutakkirizibwa. Mu kutakkirizibwa, ggoolo oba enywedde oba egaanyi, ddiifiri agabira ttiimu ebadde ekubwa peneti ‘ndirect free kick' n'awa n'omukubi kaadi eya kyenvu.

8 Omuzanyi yenna okukuba peneti, ateekeddwa okutegeerekeka. Singa omulala (abadde teeyeerambise) avaayo n'agikuba, ggoolo bw'enywa oba okugaana, ddifiri agabira ttiimu ebadde ekubwa peneti ‘free kick' ate eyeetuminkiriza okugikuba n'afuna kaadi eya kyenvu.

Egyo gy'emisango mu kusimula peneti mu ddakiika 90. Bitono nnyo ebikyuuka ng'omuzannyo gugenze ‘mu bunnya'.

alitomusange12@gmail.com

0704 771 645