Ebyavudde mu kalulu ka Buganda tebyavudde ku mawanga-Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'alonda akalulu ka Mmeeya ne ba kansala

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye balonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti wiiki ewedde tekwesigamiziddwa ku mawanga wabula kyavudde ku bizibu enkumu ebifumbekedde mu kitundu kino.
Bino abyogedde oluvanyuma lw'okulonda mu kifo ekiyitibwa Polio ekisangibwa mu Lweza B mu munisipaali ya Makindye Ssabagabo mu disitulikiti ye Wakiso olwaleero nga 20,2021 n'agamba nti Buganda erina ebizibu bingi byeyayogeddeko ng'ebiyinza okuba nga byebyaviriddeko abantu okuyiira Pulezidenti w'ekibiina kya NUP,Robert Kyagulanyi Ssentamu obululu.
"Eby'obulamu,eby'enjigiriza,obwavu,ebbula ly'emirimu,enguudo embi,obuli bwenguzi. Naye era wabaddewon'ebirala ng' okutta abantu waliwo abattibwa mu November 2020,ekiwamba bantu- abakazi bawambibwa,ekibattaka. Waliwo n'ebintu Obwakabaka bwebibanja ng'enkola y'okugabana obuyinza ne gavumenti eyawakati eya FEDERO."
Abantu abasukka 100 battibwa mu kwekalakasa okwaaliwo nga November 18-19,2020 era Mayiga yagambye nti ebitundu bingi mu Buganda obwaavu buwunya n'okuwunya!
Katikkiro Mayiga yayongedde naawa eky'okulabirako ky'abantu be Busoga n'ebirala abawadde Kyagulanyi obululu wamu n'abo abali mu Ankole bonna beyagambye nti tasuubira nti okulonda Museveni mu maanyi,bakikoze lwa busosoze mu mawanga!
Mu kifo ky'okukulembeza ensonga y'amawanga ng'eyavuddeko NRM okuwangulwa mu Buganda,Mayiga yasabye obukulembeze bw'ekibiina kino okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okugonjoolamu ensonga zino.
"Teri kitundu kisobola kulonda ng'abantu abo tebabeerera ddala mu bitundu ebyo ate emyaka mingi ddala ng'abantu mu Buganda bazze balonda abantu abatali Baganda mu bukulembeze ekintu ekitasangibwa mu bitundu bya Uganda birala n'olwekyo neewunya abo aboogera nti abantu ba Buganda basosoze era kyandibadde kirungi enjogera eyo bagikomye,"Katikkiro Mayiga bweyawabudde.
Mayiga eyabadde ne Mukyalawe Margaret Mayiga yayogedde ku bantu abatono abazze okwenyigira mu kulonda kwa gavumenti ez'ebitundu bwogerageranya n'abo abajja mu bungi okulonda Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti wiiki ewedde n'agamba nti kulaga engeri abantu gyebateeka obukulu ku buli ofiisi ya bukulembeze mu ggwanga.
"Abakulembeze ba disitulikiti n'ebitndu ebirala balina ensonga zebasobola okukolako.Obukulembeze bwetaagamu amaloboozi g'abantu okuviira ddala wansi era y'ensonga lwaki nze ne Mukyalawange tuzze netuonda abakulembeze baffe aba disitulikiti kubanga waliwo  ebyetaaga okutereezamu mu disitulikiti ye Wakiso," Mayiga bweyagambye.
Katikkiro Mayiga era yakubirizza abantu okujjumbira okulonda kw'emitendera emirala egisigaddeyo kubanga abakulembeze abo bebabeera nabo mu bitundu byaabwe n'olwekyo nabo nga bamugaso