DERRICK ORONE naye alaze byatandikirako

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja era pulomoota w'abayimbi ab'enjawulo abanene n'abato. Mu kiseera kino ye maneja wa Grenade Official era nnannyini kibiina ky'abayimbi ekya Rydim Empire.

Orone wakati mu ssanyu yagambye nti wadde alina bizinensi endala z'akola, ensiike y'okuyimba yeesinze okumutunda n'atuuka n'okumanyika e Pallisa gye bamuyiiridde obululu kale tasobola kugivaako.

Agamba okukakasa nti okuyimba akyakuteekeramu ddala ssente, mu bimu by'ateekateeka okukola mwe muli n'okuzimba situdiyo ey'omulembe e Pallisa okulaba ng'akwata ku bitone by'abayimbi abali mu kitundu kino.

"Nze omu ku bantu abaludde nga batambuza enjiri ya ‘copyright law' (etteeka ku biyiiyizibwa) naye nga sirina bulungi we njogerera. Kati ke nfuuse omubaka eno y'emu ku nsonga gye njagala okuteekako essira okulaba ng'etteeka lino liteekebwa mu nkola kubanga lyayisibwa dda.

Ebizibu ebinyiga abayimbi ebisinga byetooloolera ku nsonga ya tteeka lino era ssinga liteekebwa mu nkola ndowooza abayimbi baffe n'abayiiya abalala tebagenda kuddamu kubonaabona.

Kale ekimu ku bintu bye njagala okutandikirako kwe kukunga bannange bwe tuli mu nsiike eno naddala abo abaayiseemu okujja mu Palamenti okulaba nti tutuukirira buli gwe kikwatako kino kitereezebwe abayimbi baffe basobole okweyagala n'okuganyulwa mu bye bakola ne bwe baba nga bavudde mu kuyimba