Ekkanisa ne bwekwata omuliro tesobola kugwa

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde enfuufu mu kiseera kino, Ekkanisa tesobola kugwa era ejja kusigala ng'egenda mu maaso ne bw'ekwata omuliro.

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Joanita Nangonzi

Omulabirizi w'e Namirembe,  Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde enfuufu mu kiseera kino, Ekkanisa tesobola kugwa era ejja kusigala ng'egenda mu maaso ne bw'ekwata omuliro.

Abamu ku Bakrisitaayo abeetabye mu kusaba.

Bino Luwalira abyogeredde mu kkanisa ya Alexader Mackay e Gobero mu busumba bw'e Kikandwa mu bussaabadinkoni bw'e Nateete. Okusaba kuno kubaddemu okuyigiriza abantu okujjukira emirimu gya Mackay omuyigiriza gye yakolera ekkanisa

Omulabirizi akuutidde abantu okwongera okusaba n'ategeeza nti waliwo abakuma omuliro mu lutalo luno oluli mu kkanisa naye balina okuguma kubanga bajja kuwangula.

Yategeezezza nti mu lutalo, wabeerawo abakutuka amagulu ng'ate abalala bagenda mu maaso kubanga Yesu yakutte engabo. Alabudde n'abantu obutagatta ndowooza zaabwe mu kirwadde kya ssennyiga omukambwe n'akuutira abantu okugoberera amateeka omuli okwambala obukookolo, okunaaba mu ngalo n'okwewa amabanga.

Akubiriza bannabyabufuzi abafunye ebinnyiizo oluvannyuma lw'akalulu okukuuma emirembe. Ate ye Ssaabadinkoni w'e Nateete, Ven. Canon Godfrey BK Buwembo akuutidde abantu okulokoka era mu kusaba kuno waliwo abantu abasukka mu 10 abalokose.