Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti bafuna 1,500,000/- nga tekuli misolo.

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti bafuna 1,500,000/- nga tekuli misolo.
Okusinziira ku tteeka lya Gavumenti ez'ebitundu bano mwe bayita okusasulwa, bassentebe bonna basasulwa omusaala gwe gumu. Enjawulo ejjira mu bigenderako okuli okusasula ennyumba, amafuta, ebyobulamu, amazzi, ensimbi ez'okuyamba abantu (Donations) n'ebirala.
Kati ssente za bino zisinziira ku bugagga bwa disitulikiti. Okugeza Wakiso esobola ebyo waggulu okubibaliriramu obukadde 20 n'eziwa ssentebe waayo ate Kalangala n'ebibaliriramu emitwalo 50 era ezo zeewa ssentebe waayo.
Bassentebe b'ama gombolola:
Ssentebe wa Kawolo Divizoni Emmanuel Kivumbi yategeezezza nti bassentebe bano basasulwa ensimbi ze zimu 300,000/- buli mwezi. Zino zisalwako omusolo gwa 25,000/- ne basigazaawo 275,000/-. Gavumenti ebaweerako ppikippiki olwo bbo ne bagissaamu amafuta. Ssinga efuna ekizibu ekitonotono nga yeetaaga kukanika olwo ssentebe ye yeekanikira kyokka bwe kiba kinene agenda ewa Ggombolola Chief n'amuyambako.
Ku mirimu emingi gy'akola mulimu n'ogwokulondoola emirimu gya Gavumenti mu ggombolola n'okukulira ebyokwerinda. Buli lw'asimbula okugenda mu ggombolola okulambula emirimu egyo aweebwa 12,000/- eziyitibwa SDA oba ‘Safari Daily Allowance'.
Bakkansala bafuna 35,000/- buli lutuula ng'ekyo kibaawo luvannyuma lw'emyezi esatu era babongerezaako 10,000/- ez'entambula.