Nja kukkiriza ebinaava mu kalulu- Sipiika wa Makindye

Sipiika w'olukiiko lwa munispaali y'e Makindye, Muzafaru Kiyemba nga naye ayagala ntebe y'obwa mmeeya agambye nti waakukkiriza ebinaava mu kalulu.

Kiyemba ng'akuba akalulu.

Sipiika w'olukiiko lwa munispaali y'e Makindye, Muzafaru Kiyemba nga naye ayagala ntebe y'obwa mmeeya agambye nti waakukkiriza ebinaava mu kalulu.

Sipiika Kiyemba.

Kiyemba azze nga talina kibiina agambye nti  mwetegefu okukkiriza byonna ebinaava mu kalulu kubanga okusoomoozebwa kungi mu kalulu kano.

Ono yalondedde ku kitebe kya minispaali y'e Makindye n'agamba nti akalulu k'omulundi guno kabaddemu Covid ssaako omuyaga gwa NUP n'olwekyo okumuwangula kisobokera ddala era mwetegefu okugenda n'ebinaavaamu.

Kyokka agambye nti ssinga awangula, mwetegefu okuweereza abantu ba Makindye mu bwesimbu.