Aguze bbulooka eziwedde n'azeekubidde ani asinga okukekkereza ssente?

BULI muntu abeera n'ekika oba ekirooto ky'ennyumba gy'ayagala okuzimba. Mulimu ababituukiriza kyokka abamu ne balemererwa olw'ebbula lya ssente n'obuteebuuza ku baasooka okukikola n'abakugu mu kuzimba.

Ng'ozimba oyinza okwekubira bbulooka oba okugula eziwedde.

Bya  Emmanuel Ssebanenya                                                                       

BULI muntu abeera n'ekika oba ekirooto ky'ennyumba gy'ayagala okuzimba. Mulimu ababituukiriza kyokka abamu ne balemererwa olw'ebbula lya ssente n'obuteebuuza ku baasooka okukikola n'abakugu mu kuzimba. 

Osobola n'okugula ebyuma ne weekolera enzigi n'amadirisa.

Kino kivuddeko abateekateeka okuzimba okusala amagezi gonna okulaba nga bazimba mu ngeri y'okukekkereza nga bayita mu nkola y'okusonda ssente, okugula ebikozesebwa mpolampola n'abamu okwekwatiramu nga beekubira bbulooka.Wabula gye biggweera ng'ate oluusi basaasaanyizza kinene.

Ying. Sulayiman Kakembo ow'e Ntebe agamba nti ebintu bingi abateekateeka okuzimba bye bakola nga balowooza nti bakekkereza gye biggweera ne bamaliriza nga boonoonye kinene. Kino bakikola mu butanwa n'obutamanya. Ebimu ku bikolebwa mulimu:

 

Okusasula abazimbi buli lunaku: Kino kikuyamba obuteezimbako mabanja n'oluusi okukwongera amaanyi okukola ennyo okunoonya ssente omulimu guleme kuyimirira. Oyinza okulowooza nti okekkereza kyokka kiyinza okuvaako emirimu okutambula akasoobo.

Omukozi bw'afuna omulimu ogumusasula ssente ennyingi ewuwo ajja kuddukawo ate ssente bwe zikuggwaako tewali kijja kutambula. Awo omuntu eyalamula ssente omulundi gumu n'omuwaako ekitundu ajja kukukolera era ogenda okumaliriza nga ssente ze ezaasigalayo ozifunye.

Okugula ebikozesebwa mu mpola: Kino kirungi era kiyamba naddala bamufunampola. Ogenda okutandika okuzimba ng'ebikozesebwa ebisinga obirina era ennyumba ogenda okugiggyako engalo ng'ewedde. 

Okuzimba ennyumba ng'eno olina okwetegeka obulungi.

Kyokka ebintu bino ebimu nga seminti by'obiteraka awaka biyinza okukwonoonekako, abaana okubibba ne babitunda, omusenyu okukulukuta enkuba, bbulooka okumenyeka n'owa Hard ware gy'otadde ssente okukwefuulira oba bizinensi okugwa n'adda mu by'okukutambuza.

Okukozesa abazimbi ab'enjawulo: Kyandibadde kirungi okukozesa abantu ab'enjawulo okuzimba ennyumba. Lwaki? Kubanga buli muntu alina obukugu n'obumanyirivu ku mutendera ogw'enjawulo. Kizibu okufuna omuntu azimba ennyumba okugiggya wansi n'agituusa waggulu n'agikomerera. Naye kino kibeera kya layisi okusinziira ku muntu akozesezza abazimbi ab'enjawulo.

Okwekolera ebizimbisibwa awaka.

Abantu bangi balina enkola y'okwekolera ebintu ku sayiti okugeza okukuba bbulooka, okwokya amadirisa n'enzigi, okukola pevaazi n'ebirala. Bw'oba olina obudde n'obukugu okulabirira emirimu gino osobola okukekkereza. Kyokka bw'oba emirimu gyonna ogenda kugirekera bakozi bijja kukusala nga bakubba n'okukukolera emirimu egitali ku mutindo.

Muhammed Nsubuga akola pevaazi e Namungoona agamba nti kyandibadde kirungi abantu ne bagula ebintu ebiwedde mu kifo kyokubikolera ku sayiti. Agamba nti oyinza okukubisa bbulooka kyokka sizoni y'enkuba n'ekukwata nga tonnaba kuzookya zonna ne zikufaako. Oluusi ekireeta embeera eno ng'okukubisa bbulooka, libeera bbula lya ssente.

EBIRUNGI EBIRI MU Kwekolera ebintu

Ebintu ebimu bye tugula oluusi babituseera ate ne batuguza amatoffaali agatali ku mutindo. Kyokka bw'oba ozeekubidde, ojja kufaayo okusamba obulungi ettaka, okuzibikka obulungi, obutasaasaanya ssente ku ntambula ate n'obutamenyeka kubanga gye bajja ku ttannuulu gye bateeka ku nju.

Ekifo w'ogenda okuzimba bwe kiba kirimu obugulumu, abakuba bbulooka bakuyamba okutereezaawo n'otosaasaanya  ssente. Ofuna ekintu ekituufu. Abatunda amatoffaali n'ab'emmotoka abamu babbi. Oyinza okumutuma bbulooka 10,000 n'akuleetera 8,000 n'ofiirwa ssente.

NNEEKUBIRA BBULOOKA NE BINSALA:                                                                                                                 Lawrence Mawanda omutuuze w'e Nalugala e Garuga agamba: Nafuna obuzibu bwa maanyi nga nzimba amaka gange. Nalowooza nti bwe nneekubira bbulooka hhenda kukekkereza. Nalekanga abaana bakuba nze ne nzija mu kibuga okuyiiya akasente.

Kyokka oluusi naddangayo ng'ente zitambulidde mu bbulooka ne zoonooneka. Ne seminti gwe nnagulanga omu ne bamubba. Gye byaggweera ng'asaasaanyizza ssente nnyingi okusinziira ku ze nali mbaliridde mu kusooka.

Ennyumba bwe yatuuka ku madirisa ssente za seminti n'abakozi ne zinzigwako. Wano enkuba we yatandikira okutonnya era sizoni yagenda okuggwaako nga bbulooka ezimu zikulukuse.

Naddamu ne nfuna ssente ne ntandika okuzimba buto nga nkozesa abazimbi abalala kye nnalowooza nti kinnannyamba okukekkereza. Wabula buli muzimbi eyatuukanga ku nnyumba ng'afuna kye yeekwasa nga mmaliriza nkizzeemu ekintu ekyayongera okunkosa mu nsawo.