Ab'akatale k'e Nakasero batabuse olw'abakulembeze abaagobwa okudda

ABASUUBUZI b'omu katale k'e Nasekero bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku baali abakulembeze abaagobwamu KCCA okugezaako okudda mu katale ku kifuba.

Abasuubuzi nga balumbye Willy Walusimbi (atudde ku ddyo) mu ofiisi.

ABASUUBUZI b'omu katale k'e Nasekero bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku baali abakulembeze abaagobwamu KCCA okugezaako okudda mu katale ku kifuba.

Ababadde bakomyewo baabadde bakulembeddwaamu Willy Walusimbi eyali akulira ab'enkoko kyokka abasuubuzi abakolera mu katale kano ne babatwala nga tebalinnya. Walusimbi yasoose kutuula mu lukiiko n'abamu ku bakulembeze abaliwo mu kiseera kino kyokka abasuubuzi bwe baakitegeddeko ne basalako ofiisi y'akatale kano ne bayiwa olukiiko luno.

Abasuubuzi bano abaabadde baleekaanira waggulu baagambye nti tebayinza kukkiriza bantu babadde babaliisa kakanja kudda mu katale kano. Poliisi y'akatale yatuuse mu bwangu n'egezaako okubakkakkanya kyokka nga baleekaana kimu nti bagende tebabaagala mu katale.

Poliisi yayongedde obukuumi mu katale kano n'efulumya Walusimbi ne banne ng'abasuubuzi bwe babakuba olube era ne babalabula obutaddamu kwetantala kulinnya kigere mu katale kano.