Okuddamu okuganza owabooda waakiri nneeyombekera

NNEEWUUNYA oba abasajja ba bodaboda Katonda yabakola mu katiba ke kamu! Alindaba nzizeemu okumuganza mpozzi nga ngudde ddalu.

Nze Cathy Kansime, mbeera Makerere mu Kikoni Banda zzooni mu Munisipaali y'e Kawempe.

Twasisinkana ne baze mu 2018 nga mpeereza mmere e Bwaise ate nga ye avuga bodaboda era yali omu ku bakasitoma bange owoolulango.

Nava mu kyalo ne nzijja e Kampala okukola ng'embeera ensusseeko. Bwe najja, nafuna omulimu gw'okutambuza emmere era nakolako omwaka gumu, omusajja ono n'atandika okunkwana.

Engeri gye nnalina ennaku yange, eby'omukwano saabiriiko nnyo kubanga abasajja baali bantawaanyizza ekimala.

Baze nga nkyakalubye yannemerako okutuusa lwe natandika okumuwuliriza okukkakkana ng'ampangudde.

Yampaana n'okunsuubiza ensi n'Eggulu era natuuka ne nzikiriza ne tutandika okubeera mu mapenzi agatagambika nga n'abatulaba batwegomba kale wamma eyali akozze ne nfuna n'omubiri.

Waayita mbale ne ntandika okutokoseza omwami wange era ekyava mu bino lwali lubuto. Yasigala andabirira okutuusa lwe nazaala era ng'omukwano gwaffe gukyali mugumu.

Omwana waffe bwe yaweza emyezi etaano, baze yatandika okukyusa enneeyisa n'atandika okuyomba nga kw'ogasse okunkuba wabula ne nguma.

Kino kyandeetera okutandika okunoonyereza ekyali kituusa ku mwami wange okukyuka bwatyo era we nazuulira nga yali afunyeeyo omuto asinga ku nze. Kino kyayongera okuntiisa kubanga ne gwe nafuna mu kusooka naye yali wa bodaboda era naye yampisa bubi nnyo.

Okumanya yakyuka, nga takyayagala kumanya binkwatako n'omwana waffe. Nejjusa nti kale ssinga nasigala ku mulimu gwange osanga nandibadde nsobola okulabirira omwana wange.

Nsaba abazirakisa okunziruukirira kubanga embeera erabika egaanye. Ndi ku ssimu nnamba; 0702195491.