Omubaka Ssewungu ayogedde amulwanira entalo ze

Bulijjo ababadde beebuuza lwaki omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu Sapule temuva mu bulago abanuukudde. Ssewungu ategeezezza nti obulamu bwe buli mu Yinsuwa ya Bikira Maria nga y'amufufuggalizza abalabe be bonna.

Omubaka Ssewungu ng'alaga omusaalaba gwe.

Bulijjo ababadde beebuuza lwaki omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu  Sapule temuva mu bulago abanuukudde.  Ssewungu ategeezezza  nti obulamu bwe buli mu Yinsuwa ya Bikira Maria nga y'amufufuggalizza abalabe be bonna.

Abamu ku bantu abaabadde ku mukolo.

    Alaze n'omusaalaba ogukomereddwako Yezu gw'ayise 'Pisito' nti agusonga busonzi mu maaso ge olwo emikisa ne gy'eggula nti era teri ayinza kumweng'anga.  Ssewungu owa NUP bino abyogeredde Kalungu gye yakaddamu okuwangula okukiikirira abantu ba Kalungu West mu Palamenti ekisanja ekyokusatu.. 

    Yategeezezza nti buli lwakaluubirizibwa nga Bikira Maria amutumira Munsinyooli Ngobya ne Sr.Amedeo nga bamulwanirako entalo nga kwe yasinziira n'okussaawo ekisenge eky'enjawulo mw'asuza Abasaserodooti.