Ez'emyoga zitabudde aba saluuni e Mbarara

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association Group nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe, Fahad Muhinda baalumbye akulira SACCO egatta ebibiina by’abasazi b’enviiri, Arsbert Taremwa mu ofiisi ye e Nsiika Nyamitanga mu kibuga Mbarara era katono bibabugume nga bamulanga okulwawo okubawa ensimbi akakadde kamu ze baasaba ez’Emyoga okuyimirizaawo ekibiina kyabwe.

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by'abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association Group nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe, Fahad Muhinda baalumbye akulira SACCO egatta ebibiina by'abasazi b'enviiri, Arsbert Taremwa mu ofiisi ye e Nsiika Nyamitanga mu kibuga Mbarara era katono bibabugume nga bamulanga okulwawo okubawa ensimbi akakadde kamu ze baasaba ez'Emyoga okuyimirizaawo ekibiina kyabwe.

Abavubuka bano abaabadde bawera 7 kw'abo 35 abali mu kibiina kino, baategeezezza nti basobeddwa kuba buli kiseera babasaba okuteekayo ssente nga buli muntu bamuggyako 10,000/- okwewandiisa mu nkola eno ey'Emyoga.

Abavubuka baagumbye mu kifo kino okuva ku ssaawa 8:00 kyokka nga ssentebe Taremwa talabikako nga yazze ku ssaawa 9:00 n'abategeeza nti ekikyabagaanyi okubawa ssente kwe kuba nga tebannatuukiriza bisaanyizo ng'ekimu ku byo kwe kussaayo abantu abakkirizibwa okuggyayo ssente kye batannakolera n'abasaba basooke babituukirize babawe ssente era n'asitukiramu n'abalekawo wabula yagenze bamuwereekereza ebisongovu.